< Yeremiya 2 >
1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti,
2 “Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto, engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa, wangoberera mu ddungu mu nsi etali nnime.
3 Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama, ebibala ebibereberye ebyamakungula ge; bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango, akabi nga kabatuukako,’” bw’ayogera Mukama Katonda.
4 Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo, era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.
5 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako ne bagenda ewala ennyo bwe batyo? Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
6 Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa, mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
7 Ne mbaleeta mu nsi engimu, mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi. Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange, ne mufuula omugabo gwange ekivume.
8 Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?” Abo abakola ku mateeka tebammanya. Abakulembeze ne banjeemera. Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.
9 “Kyenva nnyongera okubalumiriza,” bw’ayogera Mukama, “Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
10 Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; era mutume e Kedali, mwetegereze. Mujja kulaba nga tekibangawo.
11 Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo, wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe n’ebitagasa.
12 Wewuunye ggwe eggulu, era okankane n’entiisa ey’amaanyi,” bw’ayogera Mukama.
13 “Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri, banvuddeko nze ensulo ey’amazzi amalamu ne beesimira ettanka ez’omu ttaka, ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”
14 “Isirayiri muddu, omuddu omuzaale? Kale lwaki afuuse omuyiggo?
15 Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma, abalabe bawulugumye nnyo. Ensi ye efuuse matongo, ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
16 Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
17 Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo, eyakukulemberanga akulage ekkubo?
18 Kaakano olowooza onooganyulwamu ki okugenda okukolagana ne Misiri? Olowooza kiki ky’onoganyulwa bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
19 Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza, n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango. Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo, n’oba nga tokyantya,” bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.
20 Mukama ow’eggye agamba nti, “Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange, n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’ Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde wakuba obwamalaaya ng’ovuunamira bakatonda abalala.
21 Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi, ensigo eteriimu kikyamu n’akatono, naye ate lwaki oyonoonese n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
22 Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi, naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo bisigala bikyalabika,” bw’ayogera Mukama Katonda.
23 Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga, sigobereranga ba Baali?” Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu; tegeera kye wakola. Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro ngeraga eno n’eri,
24 ng’endogoyi ey’omu nsiko eddukira mu ddungu mw’emanyidde, ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo, mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza? Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya; mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 Tokooya bigere byo, era tokaza mimiro gyo. Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere, sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala, nteekwa okubanoonya.”
26 Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa, n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo, bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo, era ne bannabbi baayo,
27 nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,” era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.” Bankubye amabega, naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 Kale bakatonda be weekolera baluwa? Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana. Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.
29 “Lwaki munneemulugunyiza? Mwenna mwanneeddiimira,” bw’ayogera Mukama.
30 Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere, tebakkiriza kugololwa. Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe ng’empologoma bw’etta.
31 Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda. Mbadde nga ddungu gye muli ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi? Kale lwaki abantu bange bagamba nti, “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo, oba omugole okwerabira ekyambalo kye? Naye ng’ate abantu bange Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala! N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu n’abatalina musango, awatali kugamba nti bakwatibwa nga babba. Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35 ogamba nti, “Sirina musango, ddala takyanninako busungu!” Laba, ŋŋenda kukusalira omusango olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 Lwaki ogenda ng’okyusakyusa amakubo go! Misiri ejja kukuswaza nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 Era n’eyo olivaayo ng’emikono ogyetisse ku mutwe, kubanga Mukama agaanye abo be weesiga; tagenda kukuyamba.