< Yeremiya 19 >
1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona,
2 ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza.
3 Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu.
4 Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango.
5 Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako.
6 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.
7 “‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.
8 Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna.
9 Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’
10 “Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba,
11 obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula.
12 Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi.
13 Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’”
14 Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti,
15 “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’”