< Yeremiya 18 >

1 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti,
הדבר אשר היה אל ירמיהו מאת יהוה לאמר׃
2 “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.”
קום וירדת בית היוצר ושמה אשמיעך את דברי׃
3 Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga.
וארד בית היוצר והנהו עשה מלאכה על האבנים׃
4 Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
ונשחת הכלי אשר הוא עשה בחמר ביד היוצר ושב ויעשהו כלי אחר כאשר ישר בעיני היוצר לעשות׃
5 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמור׃
6 “Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri.
הכיוצר הזה לא אוכל לעשות לכם בית ישראל נאם יהוה הנה כחמר ביד היוצר כן אתם בידי בית ישראל׃
7 Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa,
רגע אדבר על גוי ועל ממלכה לנתוש ולנתוץ ולהאביד׃
8 era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola.
ושב הגוי ההוא מרעתו אשר דברתי עליו ונחמתי על הרעה אשר חשבתי לעשות לו׃
9 Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba,
ורגע אדבר על גוי ועל ממלכה לבנת ולנטע׃
10 era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.
ועשה הרעה בעיני לבלתי שמע בקולי ונחמתי על הטובה אשר אמרתי להיטיב אותו׃
11 “Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’
ועתה אמר נא אל איש יהודה ועל יושבי ירושלם לאמר כה אמר יהוה הנה אנכי יוצר עליכם רעה וחשב עליכם מחשבה שובו נא איש מדרכו הרעה והיטיבו דרכיכם ומעלליכם׃
12 Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’”
ואמרו נואש כי אחרי מחשבותינו נלך ואיש שררות לבו הרע נעשה׃
13 Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti, “Mwebuuzeeko mu mawanga. Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti? Muwala wange Isirayiri akoze ekintu eky’ekivve.
לכן כה אמר יהוה שאלו נא בגוים מי שמע כאלה שעררת עשתה מאד בתולת ישראל׃
14 Omuzira oguli ku Lebanooni gwali guwedde ku njazi zaakwo? Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala gaali galeseeyoko okukulukuta?
היעזב מצור שדי שלג לבנון אם ינתשו מים זרים קרים נוזלים׃
15 Naye ate abantu bange banneerabidde, banyookezza obubaane eri bakatonda abalala, abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe era ne mu makubo ag’edda era ne balaga mu bukubokubo.
כי שכחני עמי לשוא יקטרו ויכשלום בדרכיהם שבילי עולם ללכת נתיבות דרך לא סלולה׃
16 Ensi yaabwe ya kusigala matongo, ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna, abo bonna abayise balyewuunya era ne banyeenya emitwe gyabwe.
לשום ארצם לשמה שרוקת עולם כל עובר עליה ישם ויניד בראשו׃
17 Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe ng’empewo eva ebuvanjuba; ndibalaga mabega so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
כרוח קדים אפיצם לפני אויב ערף ולא פנים אראם ביום אידם׃
18 Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”
ויאמרו לכו ונחשבה על ירמיהו מחשבות כי לא תאבד תורה מכהן ועצה מחכם ודבר מנביא לכו ונכהו בלשון ואל נקשיבה אל כל דבריו׃
19 Ompulirize, Ayi Mukama, owulirize abampakanya kye bagamba.
הקשיבה יהוה אלי ושמע לקול יריבי׃
20 Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi? Bansimidde obunnya. Ojjukire nga nayimirira mu maaso go ne nkaaba ku lwabwe, nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
הישלם תחת טובה רעה כי כרו שוחה לנפשי זכר עמדי לפניך לדבר עליהם טובה להשיב את חמתך מהם׃
21 Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala, obaweeyo battibwe n’ekitala. Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu; abasajja baabwe battibwe; abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
לכן תן את בניהם לרעב והגרם על ידי חרב ותהינה נשיהם שכלות ואלמנות ואנשיהם יהיו הרגי מות בחוריהם מכי חרב במלחמה׃
22 Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe, bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo, kubanga bansimidde ekinnya bankwate era bateze ebigere byange emitego.
תשמע זעקה מבתיהם כי תביא עליהם גדוד פתאם כי כרו שיחה ללכדני ופחים טמנו לרגלי׃
23 Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna, bye bateesa banzite. Tobasonyiwa byonoono byabwe wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go. Obawangulire ddala, era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
ואתה יהוה ידעת את כל עצתם עלי למות אל תכפר על עונם וחטאתם מלפניך אל תמחי והיו מכשלים לפניך בעת אפך עשה בהם׃

< Yeremiya 18 >