< Yeremiya 17 >

1 “Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma n’ejjinja essongovu; kirambiddwa ku mitima gyabwe ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
חטאת יהודה כתובה בעט ברזל בצפרן שמיר חרושה על לוח לבם ולקרנות מזבחותיכם׃
2 N’abaana baabwe basinziza ku byoto bya bakatonda ba Asera ebiri ku buli muti oguyimiridde era ne ku busozi obuwanvu.
כזכר בניהם מזבחותם ואשריהם על עץ רענן על גבעות הגבהות׃
3 Olusozi lwange oluli mu nsi, obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna, ndibiwaayo byonna binyagibwe n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
הררי בשדה חילך כל אוצרותיך לבז אתן במתיך בחטאת בכל גבוליך׃
4 Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo, ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako, kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa ogunaayakanga emirembe gyonna.”
ושמטתה ובך מנחלתך אשר נתתי לך והעבדתיך את איביך בארץ אשר לא ידעת כי אש קדחתם באפי עד עולם תוקד׃
5 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda.
כה אמר יהוה ארור הגבר אשר יבטח באדם ושם בשר זרעו ומן יהוה יסור לבו׃
6 Aliba ng’ekisaka mu ddungu, ataliraba birungi bwe birijja, naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
והיה כערער בערבה ולא יראה כי יבוא טוב ושכן חררים במדבר ארץ מלחה ולא תשב׃
7 Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, nga Mukama ly’essuubi lye.
ברוך הגבר אשר יבטח ביהוה והיה יהוה מבטחו׃
8 Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga, nga wadde omusana gujja, tegutya n’amakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya era teguliremwa kubala bibala.
והיה כעץ שתול על מים ועל יובל ישלח שרשיו ולא ירא כי יבא חם והיה עלהו רענן ובשנת בצרת לא ידאג ולא ימיש מעשות פרי׃
9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etawonyezeka. Ani ayinza okugutegeera?
עקב הלב מכל ואנש הוא מי ידענו׃
10 “Nze Mukama nkebera omutima, ngezesa emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebikolwa bye bwe biri.”
אני יהוה חקר לב בחן כליות ולתת לאיש כדרכו כפרי מעלליו׃
11 Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu; obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera, bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
קרא דגר ולא ילד עשה עשר ולא במשפט בחצי ימו יעזבנו ובאחריתו יהיה נבל׃
12 Ekifo kyaffe ekitukuvu, ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
כסא כבוד מרום מראשון מקום מקדשנו׃
13 Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri, bonna abakuvaako baliswala. Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw’amazzi amalamu.
מקוה ישראל יהוה כל עזביך יבשו יסורי בארץ יכתבו כי עזבו מקור מים חיים את יהוה׃
14 Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza.
רפאני יהוה וארפא הושיעני ואושעה כי תהלתי אתה׃
15 Tobakkiriza kuŋŋamba nti, “Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? Ka kituukirire nno kaakano!”
הנה המה אמרים אלי איה דבר יהוה יבוא נא׃
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo, omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku. Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
ואני לא אצתי מרעה אחריך ויום אנוש לא התאויתי אתה ידעת מוצא שפתי נכח פניך היה׃
17 Toba wa ntiisa gye ndi, ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
אל תהיה לי למחתה מחסי אתה ביום רעה׃
18 Abo abanjigganya leka baswale, era onkuume nneme kuswala; leka bagwemu ekyekango nze onkuume nneme okwekanga, batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa, bazikiririze ddala.
יבשו רדפי ואל אבשה אני יחתו המה ואל אחתה אני הביא עליהם יום רעה ומשנה שברון שברם׃
19 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi.
כה אמר יהוה אלי הלך ועמדת בשער בני עם אשר יבאו בו מלכי יהודה ואשר יצאו בו ובכל שערי ירושלם׃
20 Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga.
ואמרת אליהם שמעו דבר יהוה מלכי יהודה וכל יהודה וכל ישבי ירושלם הבאים בשערים האלה׃
21 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna,
כה אמר יהוה השמרו בנפשותיכם ואל תשאו משא ביום השבת והבאתם בשערי ירושלם׃
22 era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’
ולא תוציאו משא מבתיכם ביום השבת וכל מלאכה לא תעשו וקדשתם את יום השבת כאשר צויתי את אבותיכם׃
23 Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa.
ולא שמעו ולא הטו את אזנם ויקשו את ערפם לבלתי שומע ולבלתי קחת מוסר׃
24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna,
והיה אם שמע תשמעון אלי נאם יהוה לבלתי הביא משא בשערי העיר הזאת ביום השבת ולקדש את יום השבת לבלתי עשות בה כל מלאכה׃
25 olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna.
ובאו בשערי העיר הזאת מלכים ושרים ישבים על כסא דוד רכבים ברכב ובסוסים המה ושריהם איש יהודה וישבי ירושלם וישבה העיר הזאת לעולם׃
26 Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
ובאו מערי יהודה ומסביבות ירושלם ומארץ בנימן ומן השפלה ומן ההר ומן הנגב מבאים עולה וזבח ומנחה ולבונה ומבאי תודה בית יהוה׃
27 Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’”
ואם לא תשמעו אלי לקדש את יום השבת ולבלתי שאת משא ובא בשערי ירושלם ביום השבת והצתי אש בשעריה ואכלה ארמנות ירושלם ולא תכבה׃

< Yeremiya 17 >