< Yeremiya 16 >
1 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti,
2 “Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino.
3 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe.
4 Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”
5 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama.
6 Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe.
7 Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.
8 Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa.
9 Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.
10 “Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’
11 Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange.
12 Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera.
13 Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
14 “Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’
15 naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
16 “Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi.
17 Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa.
18 Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
19 Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku, bannaggwanga balijja gy’oli, okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti, “Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba, ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 Abantu beekolera bakatonda baabwe? Ye, naye si Katonda!
21 “Noolwekyo ndibayigiriza, ku mulundi guno; ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange. Olwo balyoke bamanye nti erinnya lyange nze Mukama.”