< Yeremiya 15 >

1 Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.
ויאמר יהוה אלי אם יעמד משה ושמואל לפני אין נפשי אל העם הזה שלח מעל פני ויצאו
2 Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’ “Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti, Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa, n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala, n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
והיה כי יאמרו אליך אנה נצא ואמרת אליהם כה אמר יהוה אשר למות למות ואשר לחרב לחרב ואשר לרעב לרעב ואשר לשבי לשבי
3 “Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.
ופקדתי עליהם ארבע משפחות נאם יהוה את החרב להרג ואת הכלבים לסחב ואת עוף השמים ואת בהמת הארץ לאכל ולהשחית
4 Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.
ונתתים לזועה (לזעוה) לכל ממלכות הארץ--בגלל מנשה בן יחזקיהו מלך יהודה על אשר עשה בירושלם
5 “Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
כי מי יחמל עליך ירושלם ומי ינוד לך ומי יסור לשאל לשלם לך
6 Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama. “Temutya kudda nnyuma. Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange ne mbazikiriza. Sikyasobola kukukwatirwa kisa.
את נטשת אתי נאם יהוה אחור תלכי ואט את ידי עליך ואשחיתך נלאיתי הנחם
7 Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi. Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
ואזרם במזרה בשערי הארץ שכלתי אבדתי את עמי מדרכיהם לוא שבו
8 Bannamwandu beeyongedde obungi okusinga n’omusenyu gw’ennyanja. Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza amalewo ababazaalira abalenzi abato. Mbakubiddewo obubalagaze n’entiisa.
עצמו לי אלמנותו מחול ימים הבאתי להם על אם בחור שדד בצהרים הפלתי עליה פתאם עיר ובהלות
9 Eyazaala omusanvu ayongobedde, awejjawejja. Enjuba ye egudde nga bukyali misana, amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde. N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala, mu maaso ga balabe baabwe,” bwayogera Mukama.
אמללה ילדת השבעה נפחה נפשה באה (בא) שמשה בעד יומם--בושה וחפרה ושאריתם לחרב אתן לפני איביהם--נאם יהוה
10 Zinsanze, mmange lwaki wanzaala omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya? Siwolanga wadde okweyazika, kyokka buli muntu ankolimira.
אוי לי אמי--כי ילדתני איש ריב ואיש מדון לכל הארץ לא נשיתי ולא נשו בי כלה מקללוני
11 Mukama agamba nti, “Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi, ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira, mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
אמר יהוה אם לא שרותך (שריתיך) לטוב אם לוא הפגעתי בך בעת רעה ובעת צרה--את האיב
12 “Omusajja ayinza okumenya ekikomo oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
הירע ברזל ברזל מצפון ונחשת
13 “Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo binyagibwe awatali kusasulwa, olw’ebibi byo byonna ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
חילך ואוצרותיך לבז אתן לא במחיר ובכל חטאותיך ובכל גבוליך
14 Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe mu ggwanga lye mutamanyi, kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro ogunaabookya gubamalewo.”
והעברתי את איביך בארץ לא ידעת כי אש קדחה באפי עליכם תוקד
15 Ayi Mukama ggwe omanyi byonna. Nzijukira ondabirire. Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya. Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala. Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
אתה ידעת יהוה זכרני ופקדני והנקם לי מרדפי--אל לארך אפך תקחני דע שאתי עליך חרפה
16 Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
נמצאו דבריך ואכלם ויהי דבריך (דברך) לי לששון ולשמחת לבבי כי נקרא שמך עלי יהוה אלהי צבאות
17 Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu era sibeerangako mu biduula nabo. Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo, era wandeetera okwekyawa.
לא ישבתי בסוד משחקים ואעלז מפני ידך בדד ישבתי כי זעם מלאתני
18 Lwaki okulumwa kwange tekukoma era n’ekiwundu kyange ne kitawona? Onomberera ng’akagga akalimbalimba ng’ensulo ekalira?
למה היה כאבי נצח ומכתי אנושה מאנה הרפא--היו תהיה לי כמו אכזב מים לא נאמנו
19 Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti, “Bwe muneenenya, ndibakomyawo musobole okumpeereza; bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde, mulibeera boogezi bange. Leka abantu bano be baba bajja gy’oli, so si ggwe okugenda gye bali.
לכן כה אמר יהוה אם תשוב ואשיבך לפני תעמד ואם תוציא יקר מזולל כפי תהיה ישבו המה אליך ואתה לא תשוב אליהם
20 Ndikufuula ekisenge eri abantu bano, ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo. Balikulwanyisa naye tebalikuwangula, kubanga ndi naawe, okukununula, n’okukulokola,” bw’ayogera Mukama.
ונתתיך לעם הזה לחומת נחשת בצורה ונלחמו אליך ולא יוכלו לך כי אתך אני להושיעך ולהצילך נאם יהוה
21 “Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.
והצלתיך מיד רעים ופדתיך מכף ערצים

< Yeremiya 15 >