< Yeremiya 14 >
1 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.
ひでりの事についてエレミヤに臨んだ主の言葉。
2 “Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye, bakaabira ensi, era omulanga gusimbuse mu Yerusaalemi.
「ユダは悲しみ、その町々の門は傾き、民は地に座して嘆き、エルサレムの叫びはあがる。
3 Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi; bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu, bakomawo n’ebintu ebikalu; ensonyi nga zibakutte n’essuubi nga libaweddemu; babikka amaaso gaabwe.
その君たちは、しもべをつかわして水をくませる。彼らが井戸の所にきても、水は見つからず、むなしい器をもって帰り、恥じ、かつ当惑して、その頭をおおう。
4 Ettaka lyatise kubanga enkuba tekyatonnya, abalimi baweddemu amaanyi, babikka ku mitwe gyabwe.
地に雨が降らず、土が、かわいて割れたため、農夫は恥じて、その頭をおおう。
5 N’empeewo ku ttale ezaala n’ereka awo omwana gwayo kubanga tewali muddo.
野にいる雌じかでさえも子を産んで、これを捨てる。草がないからである。
6 N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu nga ziwejjawejja ng’ebibe, amaaso gaazo nga tegalaba bulungi kubanga tezirina kye zirya.”
野ろばは、はげ山の上に立って、山犬のようにあえぎ、草のないために、その目はくらむ。
7 Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama, baako ky’okola olw’erinnya lyo. Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi, tukwonoonye nnyo.
主よ、われわれの罪がわれわれを訴えて不利な証言をしても、あなたの名のために、事をなしてください。われわれの背信の数は多く、あなたに向かって罪を犯しました。
8 Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri, Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku, lwaki oli ng’omuyise mu nsi, ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
イスラエルの望みなる主よ、悩みの時の救主よ、なぜ、あなたはこの地に住む異邦の人のようにし、また一夜の宿りのために立ち寄る旅びとのようになさらねばならないのですか。
9 Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi, ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula? Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe, era tuyitibwa linnya lyo. Totuleka.
なぜ、あなたは、うろたえている人のようにし、また人を救いえない勇士のようになさらねばならないのですか。主よ、あなたはわれわれのうちにいらせられます。われわれは、み名によって呼ばれている者です。われわれを見捨てないでください」。
10 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti, “Baagala nnyo okubula, tebaziyiza bigere byabwe. Noolwekyo Mukama tabakkiriza era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
この民について主はこう言われる、「彼らはこのように好んで、さまよい、その足をとどめることをしなかったので、主は彼らを喜ばず、いまそのとがを覚え、その罪を罰するのだ」。
11 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi.
主はわたしに言われた、「この民のために恵みを祈ってはならない。
12 Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”
彼らが断食しても、わたしは彼らの呼ぶのを聞かない。燔祭と素祭をささげても、わたしはそれを受けない。かえって、つるぎと、ききん、および疫病をもって、彼らを滅ぼしてしまう」。
13 Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’”
わたしは言った、「ああ、主なる神よ、預言者たちはこの民に向かい、『あなたがたは、つるぎを見ることはない。ききんもこない。わたしはこの所に確かな平安をあなたがたに与える』と言っています」。
14 Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe.
主はわたしに言われた、「預言者らはわたしの名によって偽りの預言をしている。わたしは彼らをつかわさなかった。また彼らに命じたこともなく、話したこともない。彼らは偽りの黙示と、役に立たない占い、および自分の心でつくりあげた欺きをあなたがたに預言しているのだ。
15 Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala.
それゆえ、わたしがつかわさないのに、わたしの名によって預言して、『つるぎとききんは、この地にこない』と言っているあの預言者について、主はこう仰せられる、この預言者らは、つるぎとききんに滅ぼされる。
16 N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.
また彼らの預言を聞く民は、ききんとつるぎとによって、エルサレムのちまたに投げ捨てられる。だれもこれを葬る者はない。彼らとその妻、およびそのむすこ娘も同様である。わたしが彼らの悪をその上に注ぐからである。
17 “Kino ky’oba obagamba nti, “‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga emisana n’ekiro awatali kukoma; kubanga muwala wange embeerera, abantu bange, bafunye ekiwundu ekinene, ekintu eky’amaanyi.
この言葉を彼らに語れ、『わたしの目は夜も昼も絶えず涙を流す。わが民の娘であるおとめが大きな傷と重い打撃によって滅ぼされるからである。
18 Bwe ŋŋenda mu byalo ndaba abafumitiddwa n’ekitala! Bwe ŋŋenda mu kibuga ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala. Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga kyokka nga bye boogera bya bulimba.’”
わたしが出て畑に行くと、つるぎで殺された者がある。町にはいると、ききんで病んでいる者がある。預言者も祭司も共にその地にさまよって、知るところがない』」。
19 Yuda ogigaanidde ddala? Sayuuni ogyetamiriddwa ddala? Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye, ekiseera eky’okuwonyezebwa naye laba tufunye bulabe bwereere.
あなたはまったくユダを捨てられたのですか。あなたの心はシオンをきらわれるのですか。あなたはわれわれを撃ったのに、どうしていやしてはくださらないのですか。われわれは平安を望んだが、良い事はこなかった。いやされる時を望んだが、かえって恐怖が来た。
20 Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga ddala twayonoona gy’oli.
主よ、われわれは自分の悪と、先祖のとがとを認めています。われわれはあなたに罪を犯しました。
21 Olw’erinnya lyo totugoba, tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa. Jjukira endagaano gye wakola naffe, togimenya, gituukirize.
み名のために、われわれを捨てないでください。あなたの栄えあるみ位をはずかしめないでください。あなたがわれわれにお立てになった契約を覚えて、それを破らないでください。
22 Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba? Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba? Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe. Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe, kubanga ggwe okola bino byonna.
異邦の偽りの神々のうちに、雨を降らせうる者があるであろうか。天が自分で夕立ちを降らすことができようか。われわれの神、主よ、あなたこそ、これをなさる方ではありませんか。われわれの待ち望むのはあなたです。あなたがこれらすべてのことをなさるからです。