< Yeremiya 13 >

1 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.”
여호와께서 이같이 내게 이르시되 너는 가서 베띠를 사서 네 허리에 띠고 물에 두지 말라 하시기로
2 Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
내가 여호와의 말씀대로 띠를 사서 내 허리에 띠니라
3 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri
여호와의 말씀이 다시 내게 임하니라 가라사대
4 nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.”
너는 사서 네 허리에 띤 띠를 가지고 일어나 유브라데로 가서 거기서 그것을 바위 틈에 감추라 하시기로
5 Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
내가 여호와께서 내게 명하신 대로 가서 그것을 유브라데 물 가에 감추니라
6 Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.”
여러 날 후에 여호와께서 내게 이르시되 일어나 유브라데로 가서 내가 네게 명하여 거기 감추게 한 띠를 취하라 하시기로
7 Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
내가 유브라데로 가서 그 감추었던 곳을 파고 띠를 취하니 띠가 썩어서 쓸데 없이 되었더라
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
여호와의 말씀이 내게 임하니라 가라사대
9 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi.
나 여호와가 말하노라 내가 유다의 교만과 예루살렘의 큰 교만을 이같이 썩게 하리라
10 Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa.
이 악한 백성이 내 말 듣기를 거절하고 그 마음의 강퍅한 대로 행하며 다른 신들을 좇아 그를 섬기며 그에게 절하니 그들이 이 띠의 쓸데 없음 같이 되리라
11 Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’”
나 여호와가 말하노라 띠가 사람의 허리에 속함 같이 내가 이스라엘 온 집과 유다 온 집으로 내게 속하게 하여 그들로 내 백성이 되게 하며 내 이름과 칭예와 영광이 되게 하려 하였으나 그들이 듣지 아니하였느니라
12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’
그러므로 너는 이 말로 그들에게 이르기를 이스라엘의 하나님 여호와의 말씀에 모든 병이 포도주로 차리라 하셨다 하라 그리하면 그들이 네게 이르기를 모든 병이 포도주로 찰줄을 우리가 어찌 알지 못하리요 하리니
13 Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi.
너는 다시 그들에게 이르기를 여호와의 말씀에 보라 내가 이 땅의 모든 거민과 다윗의 위에 앉은 왕들과 제사장들과 선지자들과 예루살렘 모든 거민으로 잔뜩 취하게 하고
14 Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’”
또 그들로 피차 충돌하여 상하게 하되 부자간에도 그러하게 할 것이라 내가 그들을 불쌍히 여기지 아니하며 관용치 아니하며 아끼지 아니하고 멸하리라 하셨다 하라 여호와의 말이니라
15 Wuliriza ontegere okutu; toba na malala, Mukama y’akyogedde.
너희는 들을지어다, 귀를 기울일지어다, 교만하지 말지어다, 여호와께서 이같이 말씀하시느니라
16 Mukama Katonda wo mugulumize nga tannaleeta kizikiza, nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi ezikutte ekizikiza. Musuubira ekitangaala, naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
그가 흑암을 일으키시기전, 너희 발이 흑암한 산에 거치기전, 너희 바라는 빛이 사망의 그늘로 변하여 침침한 흑암이 되게 하시기 전에 너희 하나님 여호와께 영광을 돌리라
17 Naye bwe mutaafeeyo, emmeeme yange eneekaabira mu kyama olw’amalala gammwe; amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini gakulukuse amaziga era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
너희가 이를 듣지 아니하면 나의 심령이 너희 교만을 인하여 은근히 곡할 것이며 여호와의 양무리가 사로잡힘을 인하여 눈물을 흘려 통곡하리라
18 Gamba kabaka era ne namasole nti, “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka, kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
너는 왕과 왕후에게 고하기를 스스로 낮추어 앉으라 관 곧 영광의 면류관이 내려졌다 하라
19 Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo, tewali n’omu anaabiggulawo; Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse, yonna yaakutwalibwa.
남방의 성읍들이 봉쇄되고 열 자가 없고 유다가 다 잡혀가되 온전히 잡혀가도다
20 Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava mu bukiikakkono. Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa, endiga ezaabeeyinuzanga?
너는 눈을 들어 북방에서 오는 자들을 보라 네가 받았던 떼, 네 아름다운 양떼는 어디 있느뇨
21 Muligamba mutya Mukama bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago? Temulirumwa ng’omukazi alumwa okuzaala?
너의 친구 삼았던 자를 그가 네 위에 수령으로 세우실 때에 네가 무슨 말을 하겠느냐 너의 고통에 잡힘이 구로하는 여인 같지 않겠느냐
22 Era bwe weebuuza nti, “Lwaki kino kintuseeko?” Olw’ebibi byo ebingi engoye zo kyezivudde ziyuzibwa, era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
네가 심중에 이르기를 어찌하여 이런 일이 내게 임하였는고 하겠으나 네 죄악이 크므로 네 치마가 들리고 네 발뒤꿈치가 상함이니라
23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe oba engo okukyusa amabala gaayo? Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi, mmwe abaamanyiira okukola ebibi.
구스인이 그 피부를, 표범이 그 반점을 변할 수 있느뇨 할 수 있을진대 악에 익숙한 너희도 선을 행할 수 있으리라
24 “Ndibasaasaanya ng’ebisusunku ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
그러므로 내가 그들을 사막 바람에 불려가는 초개 같이 흩으리로다
25 Guno gwe mugabo gwo gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama, “kubanga wanneerabira ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
여호와께서 가라사대 이는 네 응득이요 내가 헤아려 정하여 네게 준 분깃이니 네가 나를 잊어버리고 거짓을 신뢰하는 연고라
26 Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe, obwereere bwammwe ne bulabika.
그러므로 내가 네 치마를 네 얼굴에까지 들춰서 네 수치를 드러내리라
27 Ndabye obwenzi bwammwe n’obwamalaaya bwe mukoze. Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi era ne mu nnimiro. Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi! Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
내가 너의 간음과 사특한 소리와 들의 작은 산 위에서 행한 네 음행의 비루하고 가증한 것을 보았노라 화 있을진저 예루살렘이여 네가 얼마나 오랜 후에야 정결하게 되겠느뇨

< Yeremiya 13 >