< Yeremiya 10 >

1 Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri.
Hear the word which the LORD speaks to you, house of Israel!
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Temugobereranga makubo g’amawanga oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu, kubanga amawanga ge byeraliikirira.
The LORD says, “Don’t learn the way of the nations, and don’t be dismayed at the signs of the sky; for the nations are dismayed at them.
3 Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa; batema omuti mu kibira, omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
For the customs of the peoples are vanity; for one cuts a tree out of the forest, the work of the hands of the workman with the ax.
4 Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu, bagukomerera n’enninga n’ennyondo guleme okunyeenyanyeenya.
They deck it with silver and with gold. They fasten it with nails and with hammers, so that it can’t move.
5 Bakatonda bafaanana nga ssemufu mu nnimiro y’ebibala, era tebasobola kwogera kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula. Tobatya, tebayinza kukukola kabi konna, wadde okukola akalungi n’akamu.”
They are like a palm tree, of turned work, and don’t speak. They must be carried, because they can’t move. Don’t be afraid of them; for they can’t do evil, neither is it in them to do good.”
6 Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda. Oli mukulu, era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
There is no one like you, LORD. You are great, and your name is great in might.
7 Ani ataakutye, Ayi Kabaka w’amawanga? Kubanga kino kye kikugwanira. Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga ne mu bwakabaka bwabwe bwonna tewali ali nga ggwe.
Who shouldn’t fear you, King of the nations? For it belongs to you. Because among all the wise men of the nations, and in all their royal estate, there is no one like you.
8 Bonna tebalina magezi basirusiru, abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
But they are together brutish and foolish, instructed by idols! It is just wood.
9 Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi, ne zaabu eva e Yufazi, ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu. Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
There is silver beaten into plates, which is brought from Tarshish, and gold from Uphaz, the work of the engraver and of the hands of the goldsmith. Their clothing is blue and purple. They are all the work of skillful men.
10 Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka ow’emirembe gyonna. Bw’asunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
But the LORD is the true God. He is the living God, and an everlasting King. At his wrath, the earth trembles. The nations aren’t able to withstand his indignation.
11 “Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’”
“You shall say this to them: ‘The gods that have not made the heavens and the earth will perish from the earth, and from under the heavens.’”
12 Mukama yakola ensi n’amaanyi ge, n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
God has made the earth by his power. He has established the world by his wisdom, and by his understanding has he stretched out the heavens.
13 Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma, asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba, era n’aggya empewo mu mawanika ge.
When he utters his voice, the waters in the heavens roar, and he causes the vapors to ascend from the ends of the earth. He makes lightnings for the rain, and brings the wind out of his treasuries.
14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu.
Every man has become brutish and without knowledge. Every goldsmith is disappointed by his engraved image; for his molten image is falsehood, and there is no breath in them.
15 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
They are vanity, a work of delusion. In the time of their visitation they will perish.
16 Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo, ye Mutonzi w’ebintu byonna, era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
The portion of Jacob is not like these; for he is the maker of all things; and Israel is the tribe of his inheritance. The LORD of Armies is his name.
17 Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi, mmwe abazingiziddwa.
Gather up your wares out of the land, you who live under siege.
18 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba nfuumuula abantu mbaggye mu nsi eno, era ndibaleetako ennaku balyoke bawambibwe.”
For the LORD says, “Behold, I will sling out the inhabitants of the land at this time, and will distress them, that they may feel it.”
19 Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange ekinnuma ennyo. Naye ate ne ŋŋamba nti, “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
Woe is me because of my injury! My wound is serious; but I said, “Truly this is my grief, and I must bear it.”
20 Eweema yange eyonooneddwa, era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali. Tewali n’omu asigaddewo kaakano kuzimba weema yange wadde okuzimba ekigango kyange.
My tent has been destroyed, and all my cords are broken. My children have gone away from me, and they are no more. There is no one to spread my tent any more, to set up my curtains.
21 Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo tebakyebuuza ku Mukama. Noolwekyo tebakulaakulana era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
For the shepherds have become brutish, and have not inquired of the LORD. Therefore they have not prospered, and all their flocks have scattered.
22 Wuliriza! Amawulire gatuuse, waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono, kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.
The voice of news, behold, it comes, and a great commotion out of the north country, to make the cities of Judah a desolation, a dwelling place of jackals.
23 Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe, omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
LORD, I know that the way of man is not in himself. It is not in man who walks to direct his steps.
24 Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde, si mu busungu bwo, si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
LORD, correct me, but gently; not in your anger, lest you reduce me to nothing.
25 Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, agatakutwala ng’ekikulu, ku bantu abatakoowoola linnya lyo. Kubanga bamazeewo Yakobo, bamuliiridde ddala era ne boonoona ensi ye.
Pour out your wrath on the nations that don’t know you, and on the families that don’t call on your name; for they have devoured Jacob. Yes, they have devoured him, consumed him, and have laid waste his habitation.

< Yeremiya 10 >