< Yakobo 2 >
1 Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu.
2 Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse,
3 ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,”
4 kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?
5 Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?
6 Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka?
7 Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8 Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
9 Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi.
10 Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna.
11 Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.
12 Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa.
13 Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
14 Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola?
15 Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya,
16 naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki?
17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
18 Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.”
19 Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!
20 Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa?
21 Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto?
22 Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye,
23 n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.”
24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.
25 Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya?
26 Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.