< Isaaya 8 >
1 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.”
2 Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3 Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi.
4 Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
5 Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,
6 “Kubanga abantu bano bagaanye amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola, ne bajaguza olwa Lezini ne mutabani wa Lemaliya,
7 kale nno Mukama anaatera okubaleetako amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu, ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna; galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.
8 Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda, galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago, n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo, ggwe Emmanweri.”
9 Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire. Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala; mwenyweze naye mwekaabire; mwenyweze naye mwekaabire.
10 Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka, mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
11 Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
12 “Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe, temubiyita nkwe, era temutya bye batya, wadde okutekemuka omutima.
13 Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu, nze gwe muba mutya, era gwe muba mwekengera.
14 Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa, era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 Era bangi abaliryesittalako, bagwe, bamenyeke, bategebwe bakwatibwe.”
16 Nyweza obujulirwa okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 Nange nnaalindirira Mukama Katonda akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo, mmunoonye n’essuubi.
18 Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19 Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu?
20 Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21 Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe.
22 Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.