< Isaaya 7 >
1 Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.
2 Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.
3 Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye,
4 omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’
5 Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza okukuleetako obulabe nga boogera nti,
6 ‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ekyo tekiibeewo era tekirituukirira.
8 Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli era ne Lezini ge maanyi ga Damasiko. Mu bbanga lya myaka nkaaga mu etaano Efulayimu kiribetentebwatentebwa nga tekikyali ggwanga.
9 Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu, era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya. Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, ddala temuliyimirira n’akatono.’”
10 Mukama Katonda n’addamu n’agamba Akazi nti,
11 “Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.” (Sheol )
12 Naye Akazi n’agamba nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa Mukama Katonda.”
13 Isaaya n’ayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa?
14 Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.
15 Bw’alituuka okwawula ekirungi n’ekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki.
16 Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo.
17 Mukama Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka w’e Bwasuli.”
18 Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama Katonda alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli.
19 Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika z’omu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna.
20 Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala w’emigga, ye kabaka w’e Bwasuli, kammwe omutwe, n’obwoya bw’oku magulu, kasalireko ddala n’ekirevu.
21 Newaakubadde mu nnaku ezo, ng’omuntu alisigaza ente emu yokka n’endiga bbiri,
22 naye olw’obungi bw’amata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki.
23 Era ng’olunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ng’olukumi lubalibwamu kilo kkumi n’emu n’ekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo n’amaggwa.
24 Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa.
25 N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi nga tezikyatuukikako olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, era kirifuuka ekifo ente n’endiga we byerundira.