< Isaaya 66 >

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, “Eggulu y’entebe yange kwe nfugira n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
כה אמר יהוה השמים כסאי והארץ הדם רגלי אי זה בית אשר תבנו לי ואי זה מקום מנוחתי
2 Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola, noolwekyo ebintu bino byonna byange?” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ono ye muntu gwe ntunulako; oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, oyo akankanira ekigambo kyange.
ואת כל אלה ידי עשתה ויהיו כל אלה נאם יהוה ואל זה אביט--אל עני ונכה רוח וחרד על דברי
3 Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu, oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa, n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi, era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono. Abantu bakutte amakubo gaabwe, era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.
שוחט השור מכה איש זובח השה ערף כלב מעלה מנחה דם חזיר מזכיר לבנה מברך און--גם המה בחרו בדרכיהם ובשקוציהם נפשם חפצה
4 Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira, mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko. Kubanga bwe nayita, teri n’omu yayanukula, bwe nnaayogera tebanfaako. Bakola ebibi mu maaso gange ne bagoberera ebitansanyusa.”
גם אני אבחר בתעלליהם ומגורתם אביא להם--יען קראתי ואין עונה דברתי ולא שמעו ויעשו הרע בעיני ובאשר לא חפצתי בחרו
5 Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abakankanira ekigambo kye. “Baganda bammwe abatabaagala era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti, ‘Leka Mukama alage obukulu bwe abalokole tulabe bwe musanyuka!’ Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.
שמעו דבר יהוה החרדים אל דברו אמרו אחיכם שנאיכם מנדיכם למען שמי יכבד יהוה--ונראה בשמחתכם והם יבשו
6 Muwulirize. Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu. Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be nga bwe kibagwanira.
קול שאון מעיר קול מהיכל קול יהוה משלם גמול לאיביו
7 “Ekibuga kyange ekitukuvu kiri ng’omukazi azaala nga tannatuusa kulumwa, obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi.
בטרם תחיל ילדה בטרם יבוא חבל לה והמליטה זכר
8 Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo? Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo? Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera? Akaseera katono bwe kati, Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.
מי שמע כזאת מי ראה כאלה--היוחל ארץ ביום אחד אם יולד גוי פעם אחת כי חלה גם ילדה ציון את בניה
9 Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ate olubuto ndusiba ntya nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.
האני אשביר ולא אוליד יאמר יהוה אם אני המוליד ועצרתי אמר אלהיך
10 “Mujagulize wamu ne Yerusaalemi era mumusanyukireko mwenna abamwagala, mujaganye nnyo mmwe mwenna abamukaabira.
שמחו את ירושלם וגילו בה כל אהביה שישו אתה משוש כל המתאבלים עליה
11 Kubanga muliyonka munywe n’essanyu mukkutire ddala ku kitiibwa kye ekingi.”
למען תינקו ושבעתם משד תנחמיה למען תמצו והתענגתם מזיז כבודה
12 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo, obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala. Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.
כי כה אמר יהוה הנני נטה אליה כנהר שלום וכנחל שוטף כבוד גוים--וינקתם על צד תנשאו ועל ברכים תשעשעו
13 Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina, bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi mu Yerusaalemi.”
כאיש אשר אמו תנחמנו--כן אנכי אנחמכם ובירושלם תנחמו
14 Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka, era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze. Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be, ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.
וראיתם ושש לבכם ועצמותיכם כדשא תפרחנה ונודעה יד יהוה את עבדיו וזעם את איביו
15 “Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro, era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga. Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
כי הנה יהוה באש יבוא וכסופה מרכבתיו--להשיב בחמה אפו וגערתו בלהבי אש
16 Omuliro n’ekitala Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna, n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.
כי באש יהוה נשפט ובחרבו את כל בשר ורבו חללי יהוה
17 “Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
המתקדשים והמטהרים אל הגנות אחר אחד (אחת) בתוך אכלי בשר החזיר והשקץ והעכבר--יחדו יספו נאם יהוה
18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
ואנכי מעשיהם ומחשבתיהם--באה לקבץ את כל הגוים והלשנות ובאו וראו את כבודי
19 “Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange.
ושמתי בהם אות ושלחתי מהם פליטים אל הגוים תרשיש פול ולוד משכי קשת--תבל ויון האיים הרחקים אשר לא שמעו את שמעי ולא ראו את כבודי--והגידו את כבודי בגוים
20 Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda.
והביאו את כל אחיכם מכל הגוים מנחה ליהוה בסוסים וברכב ובצבים ובפרדים ובכרכרות על הר קדשי ירושלם--אמר יהוה כאשר יביאו בני ישראל את המנחה בכלי טהור בית יהוה
21 Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
וגם מהם אקח לכהנים ללוים אמר יהוה
22 “Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala.
כי כאשר השמים החדשים והארץ החדשה אשר אני עשה עמדים לפני--נאם יהוה כן יעמד זרעכם ושמכם
23 Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והיה מדי חדש בחדשו ומדי שבת בשבתו יבוא כל בשר להשתחות לפני אמר יהוה
24 “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”
ויצאו וראו--בפגרי האנשים הפשעים בי כי תולעתם לא תמות ואשם לא תכבה והיו דראון לכל בשר

< Isaaya 66 >