< Isaaya 65 >

1 Mukama n’alyoka agamba nti, “Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. Neeraga abo abaali tebannoonya. Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
נדרשתי ללוא שאלו נמצאתי ללא בקשני אמרתי הנני הנני אל גוי לא קרא בשמי׃
2 Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba eri abantu abeewagguzze, abatambulira mu makubo amabi abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
פרשתי ידי כל היום אל עם סורר ההלכים הדרך לא טוב אחר מחשבתיהם׃
3 abantu bulijjo abansomooza mu maaso gange gennyini nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
העם המכעיסים אותי על פני תמיד זבחים בגנות ומקטרים על הלבנים׃
4 abatuula mu malaalo ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama y’embizzi, era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
הישבים בקברים ובנצורים ילינו האכלים בשר החזיר ופרק פגלים כליהם׃
5 Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, omuliro ogwaka olunaku lwonna.
האמרים קרב אליך אל תגש בי כי קדשתיך אלה עשן באפי אש יקדת כל היום׃
6 “Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange. Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu, nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
הנה כתובה לפני לא אחשה כי אם שלמתי ושלמתי על חיקם׃
7 olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi era ne bannyoomera ku busozi, ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
עונתיכם ועונת אבותיכם יחדו אמר יהוה אשר קטרו על ההרים ועל הגבעות חרפוני ומדתי פעלתם ראשנה על חיקם׃
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama: “Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona, gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange. Sijja kubasaanyaawo bonna.
כה אמר יהוה כאשר ימצא התירוש באשכול ואמר אל תשחיתהו כי ברכה בו כן אעשה למען עבדי לבלתי השחית הכל׃
9 Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange abalonde balizigabana, era eyo abaweereza bange gye balibeera.
והוצאתי מיעקב זרע ומיהודה יורש הרי וירשוה בחירי ועבדי ישכנו שמה׃
10 Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo, era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira olw’abantu bange abannoonya.
והיה השרון לנוה צאן ועמק עכור לרבץ בקר לעמי אשר דרשוני׃
11 “Naye mmwe abava ku Mukama ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa, ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
ואתם עזבי יהוה השכחים את הר קדשי הערכים לגד שלחן והממלאים למני ממסך׃
12 ndibawaayo eri ekitala era mwenna mukutaamirire musalibwe, kubanga nabayita naye temwayitaba, nayogera naye temwampuliriza. Mwakola ebitasaana era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
ומניתי אתכם לחרב וכלכם לטבח תכרעו יען קראתי ולא עניתם דברתי ולא שמעתם ותעשו הרע בעיני ובאשר לא חפצתי בחרתם׃
13 Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba: “Abaweereza bange bajja kulya, naye mmwe mujja kulumwa enjala, abaweereza bange bajja kunywa, naye mmwe mulumwe ennyonta; abaweereza bange bajja kujaguza, naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
לכן כה אמר אדני יהוה הנה עבדי יאכלו ואתם תרעבו הנה עבדי ישתו ואתם תצמאו הנה עבדי ישמחו ואתם תבשו׃
14 Abaweereza bange bajja kuyimba olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe, naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
הנה עבדי ירנו מטוב לב ואתם תצעקו מכאב לב ומשבר רוח תילילו׃
15 Ekikolimo kiryoke kibagwire, Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte amannya gammwe geerabirwe, naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
והנחתם שמכם לשבועה לבחירי והמיתך אדני יהוה ולעבדיו יקרא שם אחר׃
16 Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima buli anaalayiranga mu ggwanga anaalayiranga Katonda ow’amazima. Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa gikwekebwe okuva mu maaso gange.
אשר המתברך בארץ יתברך באלהי אמן והנשבע בארץ ישבע באלהי אמן כי נשכחו הצרות הראשנות וכי נסתרו מעיני׃
17 “Laba nditonda eggulu eriggya n’ensi empya. Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.
כי הנני בורא שמים חדשים וארץ חדשה ולא תזכרנה הראשנות ולא תעלינה על לב׃
18 Naye musanyukire ekyo kye ntonda mujaguze emirembe n’emirembe, kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu n’abantu baamu okuba okujaguza.
כי אם שישו וגילו עדי עד אשר אני בורא כי הנני בורא את ירושלם גילה ועמה משוש׃
19 Ndijaguza olwa Yerusaalemi era nsanyukire abantu bange; amaloboozi ag’okukaaba tegaliddayo kuwulirwamu.
וגלתי בירושלם וששתי בעמי ולא ישמע בה עוד קול בכי וקול זעקה׃
20 “Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere anaaberawo ennaku obunaku, oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye; oyo alifiira ku myaka ekikumi alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka. Oyo atalituusa kikumi abalibwe ng’eyakolimirwa.
לא יהיה משם עוד עול ימים וזקן אשר לא ימלא את ימיו כי הנער בן מאה שנה ימות והחוטא בן מאה שנה יקלל׃
21 Balizimba ennyumba bazisulemu, balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
ובנו בתים וישבו ונטעו כרמים ואכלו פרים׃
22 Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu, tebalisimba ate omulala abirye. Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange. Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa emirimu gy’emikono gyabwe.
לא יבנו ואחר ישב לא יטעו ואחר יאכל כי כימי העץ ימי עמי ומעשה ידיהם יבלו בחירי׃
23 Tebalikolera bwereere oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga, kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa, bo awamu n’ab’enda yaabwe.
לא ייגעו לריק ולא ילדו לבהלה כי זרע ברוכי יהוה המה וצאצאיהם אתם׃
24 Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.
והיה טרם יקראו ואני אענה עוד הם מדברים ואני אשמע׃
25 Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu, era empologoma erye omuddo ng’ennume, era ettaka libeere emmere y’omusota. Tewaliba kulumya wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
זאב וטלה ירעו כאחד ואריה כבקר יאכל תבן ונחש עפר לחמו לא ירעו ולא ישחיתו בכל הר קדשי אמר יהוה׃

< Isaaya 65 >