< Isaaya 64 >

1 Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi, ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku, oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera, ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo, n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
כקדח אש המסים מים תבעה אש להודיע שמך לצריך מפניך גוים ירגזו
3 Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira, wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
בעשותך נוראות לא נקוה ירדת מפניך הרים נזלו
4 Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde oba kutu kwali kutegedde, oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, alwanirira abo abamulindirira.
ומעולם לא שמעו לא האזינו עין לא ראתה אלהים זולתך--יעשה למחכה לו
5 Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu, abo abajjukira amakubo go. Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu. Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe, ddala tulirokolebwa?
פגעת את שש ועשה צדק בדרכיך יזכרוך הן אתה קצפת ונחטא בהם עולם ונושע
6 Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu. Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
ונהי כטמא כלנו וכבגד עדים כל צדקתינו ונבל כעלה כלנו ועוננו כרוח ישאנו
7 Tewali n’omu akoowoola linnya lyo oba eyewaliriza okukukwatako, kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
ואין קורא בשמך מתעורר להחזיק בך כי הסתרת פניך ממנו ותמוגנו ביד עוננו
8 Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
ועתה יהוה אבינו אתה אנחנו החמר ואתה יצרנו ומעשה ידך כלנו
9 Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda, tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna. Weewaawo, tutunuulire, tusaba, kubanga tuli bantu bo.
אל תקצף יהוה עד מאד ואל לעד תזכר עון הן הבט נא עמך כלנו
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu, ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
ערי קדשך היו מדבר ציון מדבר היתה ירושלם שממה
11 Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro, era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
בית קדשנו ותפארתנו אשר הללוך אבתינו--היה לשרפת אש וכל מחמדינו היה לחרבה
12 Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo? Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?
העל אלה תתאפק יהוה תחשה ותעננו עד מאד

< Isaaya 64 >