< Isaaya 63 >
1 Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula anekaanekanye mu ngoye emyufu. Ani ono ali mu ngoye za bakabaka akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye? “Ye nze alangirira obutuukirivu, ow’amaanyi okulokola.”
2 Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
3 “Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu, tewali n’omu yajja kunnyambako. Nabalinnyiririra mu busungu era omusaayi gwabwe ne gusammukira ku ngoye zange, era guyiise ku byambalo byange.
4 Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse, olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
5 Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba, newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako. Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi, era obusungu bwange ne bunnyweza.
6 Mu busungu bwange nalinnyirira abantu, mu kiruyi kyange ne mbatamiiza, omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7 Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde; weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
8 Yagamba nti, “Ddala bantu bange, abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,” era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
9 Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya. Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula; yabayimusa n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
10 Naye baajeema ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe era ye kennyini n’abalwanyisa.
11 Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda, ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be; aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye. Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, eyayawulamu amazzi nga balaba, yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba? Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde, Omwoyo wa Mukama yabawummuza. Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe, ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu. Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa? Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
16 Ggwe Kitaffe, wadde nga Ibulayimu tatumanyi era nga Isirayiri tatutegeera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe okuva edda n’edda lye linnya lyo.
17 Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go, n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya? Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo amawanga g’omugabo gwo.
18 Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono, naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19 Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda; naye bo tobafuganga, tebayitibwanga linnya lyo.