< Isaaya 62 >

1 Ku lwa Sayuuni ssiisirike, era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule, okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala, obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.
לְמַעַן צִיּוֹן לֹא אֶחֱשֶׁה וּלְמַעַן יְרוּשָׁלַ͏ִם לֹא אֶשְׁקוֹט עַד־יֵצֵא כַנֹּגַהּ צִדְקָהּ וִישׁוּעָתָהּ כְּלַפִּיד יִבְעָֽר׃
2 Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Oliyitibwa erinnya epya akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
וְרָאוּ גוֹיִם צִדְקֵךְ וְכָל־מְלָכִים כְּבוֹדֵךְ וְקֹרָא לָךְ שֵׁם חָדָשׁ אֲשֶׁר פִּי יְהוָה יִקֳּבֶֽנּוּ׃
3 Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama, enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
וְהָיִיתְ עֲטֶרֶת תִּפְאֶרֶת בְּיַד־יְהוָה וצנוף וּצְנִיף מְלוּכָה בְּכַף־אֱלֹהָֽיִךְ׃
4 Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa, ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika. Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira, n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa. Kubanga Mukama akusanyukira era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
לֹֽא־יֵאָמֵר לָךְ עוֹד עֲזוּבָה וּלְאַרְצֵךְ לֹא־יֵאָמֵר עוֹד שְׁמָמָה כִּי לָךְ יִקָּרֵא חֶפְצִי־בָהּ וּלְאַרְצֵךְ בְּעוּלָה כִּֽי־חָפֵץ יְהוָה בָּךְ וְאַרְצֵךְ תִּבָּעֵֽל׃
5 Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza, bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
כִּֽי־יִבְעַל בָּחוּר בְּתוּלָה יִבְעָלוּךְ בָּנָיִךְ וּמְשׂוֹשׂ חָתָן עַל־כַּלָּה יָשִׂישׂ עָלַיִךְ אֱלֹהָֽיִךְ׃
6 Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro. Mmwe abakoowoola Mukama temuwummula.
עַל־חוֹמֹתַיִךְ יְרוּשָׁלִַם הִפְקַדְתִּי שֹֽׁמְרִים כָּל־הַיּוֹם וְכָל־הַלַּיְלָה תָּמִיד לֹא יֶחֱשׁוּ הַמַּזְכִּרִים אֶת־יְהוָה אַל־דֳּמִי לָכֶֽם׃
7 Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi era ng’agifudde ettendo mu nsi.
וְאַֽל־תִּתְּנוּ דֳמִי לוֹ עַד־יְכוֹנֵן וְעַד־יָשִׂים אֶת־יְרֽוּשָׁלַ͏ִם תְּהִלָּה בָּאָֽרֶץ׃
8 Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo era n’omukono gwe ogw’amaanyi: “Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo, era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
נִשְׁבַּע יְהוָה בִּֽימִינוֹ וּבִזְרוֹעַ עֻזּוֹ אִם־אֶתֵּן אֶת־דְּגָנֵךְ עוֹד מַֽאֲכָל לְאֹיְבַיִךְ וְאִם־יִשְׁתּוּ בְנֵֽי־נֵכָר תִּֽירוֹשֵׁךְ אֲשֶׁר יָגַעַתְּ בּֽוֹ׃
9 Naye abo abagikungula be baligirya ne batendereza Mukama, n’abo abanoga emizabbibu be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”
כִּי מְאַסְפָיו יֹאכְלֻהוּ וְהִֽלְלוּ אֶת־יְהוָה וּֽמְקַבְּצָיו יִשְׁתֻּהוּ בְּחַצְרוֹת קָדְשִֽׁי׃
10 Muyiteemu, muyite mu miryango mugende! Muzimbe oluguudo, mulugyemu amayinja. Muyimusize amawanga ebbendera.
עִבְרוּ עִבְרוּ בַּשְּׁעָרִים פַּנּוּ דֶּרֶךְ הָעָם סֹלּוּ סֹלּוּ הַֽמְסִלָּה סַקְּלוּ מֵאֶבֶן הָרִימוּ נֵס עַל־הָעַמִּֽים׃
11 Laba Mukama alangiridde eyo yonna ensi gy’ekoma, nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba omulokozi wo ajja, Laba aleeta n’ebirabo bingi, n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’”
הִנֵּה יְהוָה הִשְׁמִיעַ אֶל־קְצֵה הָאָרֶץ אִמְרוּ לְבַת־צִיּוֹן הִנֵּה יִשְׁעֵךְ בָּא הִנֵּה שְׂכָרוֹ אִתּוֹ וּפְעֻלָּתוֹ לְפָנָֽיו׃
12 Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu, Abanunule ba Mukama, ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala, Ekibuga Ekitakyali ttayo.
וְקָרְאוּ לָהֶם עַם־הַקֹּדֶשׁ גְּאוּלֵי יְהוָה וְלָךְ יִקָּרֵא דְרוּשָׁה עִיר לֹא נֶעֱזָֽבָה׃

< Isaaya 62 >