< Isaaya 61 >

1 Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
ר֛וּחַ אֲדֹנָ֥י יְהוִ֖ה עָלָ֑י יַ֡עַן מָשַׁח֩ יְהוָ֨ה אֹתִ֜י לְבַשֵּׂ֣ר עֲנָוִ֗ים שְׁלָחַ֙נִי֙ לַחֲבֹ֣שׁ לְנִשְׁבְּרֵי־לֵ֔ב לִקְרֹ֤א לִשְׁבוּיִם֙ דְּרֹ֔ור וְלַאֲסוּרִ֖ים פְּקַח־קֹֽוחַ׃
2 Okulangirira omwaka gwa Mukama ogw’okulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
לִקְרֹ֤א שְׁנַת־רָצֹון֙ לַֽיהוָ֔ה וְיֹ֥ום נָקָ֖ם לֵאלֹהֵ֑ינוּ לְנַחֵ֖ם כָּל־אֲבֵלִֽים׃
3 Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu, n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. Ekyambalo ky’okutendereza mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.
לָשׂ֣וּם ׀ לַאֲבֵלֵ֣י צִיֹּ֗ון לָתֵת֩ לָהֶ֨ם פְּאֵ֜ר תַּ֣חַת אֵ֗פֶר שֶׁ֤מֶן שָׂשֹׂון֙ תַּ֣חַת אֵ֔בֶל מַעֲטֵ֣ה תְהִלָּ֔ה תַּ֖חַת ר֣וּחַ כֵּהָ֑ה וְקֹרָ֤א לָהֶם֙ אֵילֵ֣י הַצֶּ֔דֶק מַטַּ֥ע יְהוָ֖ה לְהִתְפָּאֵֽר׃
4 Baliddamu bazimbe ebyali bizise, balirongoosa ebibuga ebyali byerabirwa edda.
וּבָנוּ֙ חָרְבֹ֣ות עֹולָ֔ם שֹׁמְמֹ֥ות רִֽאשֹׁנִ֖ים יְקֹומֵ֑מוּ וְחִדְּשׁוּ֙ עָ֣רֵי חֹ֔רֶב שֹׁמְמֹ֖ות דֹּ֥ור וָדֹֽור׃
5 Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe, abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
וְעָמְד֣וּ זָרִ֔ים וְרָע֖וּ צֹאנְכֶ֑ם וּבְנֵ֣י נֵכָ֔ר אִכָּרֵיכֶ֖ם וְכֹרְמֵיכֶֽם׃
6 Era muyitibwe bakabona ba Mukama, abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama, mulirya obugagga bw’amawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
וְאַתֶּ֗ם כֹּהֲנֵ֤י יְהוָה֙ תִּקָּרֵ֔אוּ מְשָׁרְתֵ֣י אֱלֹהֵ֔ינוּ יֵאָמֵ֖ר לָכֶ֑ם חֵ֤יל גֹּויִם֙ תֹּאכֵ֔לוּ וּבִכְבֹודָ֖ם תִּתְיַמָּֽרוּ׃
7 Mu kifo ky’ensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo ky’okuswala basanyuke olw’ebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
תַּ֤חַת בָּשְׁתְּכֶם֙ מִשְׁנֶ֔ה וּכְלִמָּ֖ה יָרֹ֣נּוּ חֶלְקָ֑ם לָכֵ֤ן בְּאַרְצָם֙ מִשְׁנֶ֣ה יִירָ֔שׁוּ שִׂמְחַ֥ת עֹולָ֖ם תִּהְיֶ֥ה לָהֶֽם׃
8 “Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu. Mu bwesigwa bwange ndibasasula era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
כִּ֣י אֲנִ֤י יְהוָה֙ אֹהֵ֣ב מִשְׁפָּ֔ט שֹׂנֵ֥א גָזֵ֖ל בְּעֹולָ֑ה וְנָתַתִּ֤י פְעֻלָּתָם֙ בֶּאֱמֶ֔ת וּבְרִ֥ית עֹולָ֖ם אֶכְרֹ֥ות לָהֶֽם׃
9 N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga n’abaana baabwe eri abantu. Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
וְנֹודַ֤ע בַּגֹּויִם֙ זַרְעָ֔ם וְצֶאֱצָאֵיהֶ֖ם בְּתֹ֣וךְ הָעַמִּ֑ים כָּל־רֹֽאֵיהֶם֙ יַכִּיר֔וּם כִּ֛י הֵ֥ם זֶ֖רַע בֵּרַ֥ךְ יְהוָֽה׃ ס
10 Nsanyukira nnyo mu Mukama, emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu, ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona, ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
שֹׂ֧ושׂ אָשִׂ֣ישׂ בַּֽיהוָ֗ה תָּגֵ֤ל נַפְשִׁי֙ בֵּֽאלֹהַ֔י כִּ֤י הִלְבִּישַׁ֙נִי֙ בִּגְדֵי־יֶ֔שַׁע מְעִ֥יל צְדָקָ֖ה יְעָטָ֑נִי כֶּֽחָתָן֙ יְכַהֵ֣ן פְּאֵ֔ר וְכַכַּלָּ֖ה תַּעְדֶּ֥ה כֵלֶֽיהָ׃
11 Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka, bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka, ensi zonna zikirabe.
כִּ֤י כָאָ֙רֶץ֙ תֹּוצִ֣יא צִמְחָ֔הּ וּכְגַנָּ֖ה זֵרוּעֶ֣יהָ תַצְמִ֑יחַ כֵּ֣ן ׀ אֲדֹנָ֣י יְהוִ֗ה יַצְמִ֤יחַ צְדָקָה֙ וּתְהִלָּ֔ה נֶ֖גֶד כָּל־הַגֹּויִֽם׃

< Isaaya 61 >