< Isaaya 60 >

1 “Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
ק֥וּמִי א֖וֹרִי כִּ֣י בָ֣א אוֹרֵ֑ךְ וּכְב֥וֹד יְהוָ֖ה עָלַ֥יִךְ זָרָֽח׃
2 Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna, naye ggwe Mukama alikwakirako era ekitiibwa kye kikulabikeko.
כִּֽי־הִנֵּ֤ה הַחֹ֙שֶׁךְ֙ יְכַסֶּה־אֶ֔רֶץ וַעֲרָפֶ֖ל לְאֻמִּ֑ים וְעָלַ֙יִךְ֙ יִזְרַ֣ח יְהוָ֔ה וּכְבוֹד֖וֹ עָלַ֥יִךְ יֵרָאֶֽה׃
3 Amawanga galijja eri omusana gwo ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
וְהָלְכ֥וּ גוֹיִ֖ם לְאוֹרֵ֑ךְ וּמְלָכִ֖ים לְנֹ֥גַהּ זַרְחֵֽךְ׃
4 “Yimusa amaaso go olabe; abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli batabani bo abava ewala ne bawala bo abasituliddwa mu mikono.
שְׂאִֽי־סָבִ֤יב עֵינַ֙יִךְ֙ וּרְאִ֔י כֻּלָּ֖ם נִקְבְּצ֣וּ בָֽאוּ־לָ֑ךְ בָּנַ֙יִךְ֙ מֵרָח֣וֹק יָבֹ֔אוּ וּבְנֹתַ֖יִךְ עַל־צַ֥ד תֵּאָמַֽנָה׃
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu, omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza. Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe, era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
אָ֤ז תִּרְאִי֙ וְנָהַ֔רְתְּ וּפָחַ֥ד וְרָחַ֖ב לְבָבֵ֑ךְ כִּֽי־יֵהָפֵ֤ךְ עָלַ֙יִךְ֙ הֲמ֣וֹן יָ֔ם חֵ֥יל גּוֹיִ֖ם יָבֹ֥אוּ לָֽךְ׃
6 Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe, eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa. Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane okulangirira ettendo lya Katonda.
שִֽׁפְעַ֨ת גְּמַלִּ֜ים תְּכַסֵּ֗ךְ בִּכְרֵ֤י מִדְיָן֙ וְעֵיפָ֔ה כֻּלָּ֖ם מִשְּׁבָ֣א יָבֹ֑אוּ זָהָ֤ב וּלְבוֹנָה֙ יִשָּׂ֔אוּ וּתְהִלֹּ֥ת יְהוָ֖ה יְבַשֵּֽׂרוּ׃
7 N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa, endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza. Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
כָּל־צֹ֤אן קֵדָר֙ יִקָּ֣בְצוּ לָ֔ךְ אֵילֵ֥י נְבָי֖וֹת יְשָׁרְת֑וּנֶךְ יַעֲל֤וּ עַל־רָצוֹן֙ מִזְבְּחִ֔י וּבֵ֥ית תִּפְאַרְתִּ֖י אֲפָאֵֽר׃
8 “Bano baani abaseyeeya nga ebire, ng’amayiba agadda mu bisu byago?
מִי־אֵ֖לֶּה כָּעָ֣ב תְּעוּפֶ֑ינָה וְכַיּוֹנִ֖ים אֶל־אֲרֻבֹּתֵיהֶֽם ׃
9 Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze; ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde bireete batabani bammwe okubaggya ewala awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza, olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri, kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
כִּֽי־לִ֣י ׀ אִיִּ֣ים יְקַוּ֗וּ וָאֳנִיּ֤וֹת תַּרְשִׁישׁ֙ בָּרִ֣אשֹׁנָ֔ה לְהָבִ֤יא בָנַ֙יִךְ֙ מֵֽרָח֔וֹק כַּסְפָּ֥ם וּזְהָבָ֖ם אִתָּ֑ם לְשֵׁם֙ יְהוָ֣ה אֱלֹהַ֔יִךְ וְלִקְד֥וֹשׁ יִשְׂרָאֵ֖ל כִּ֥י פֵאֲרָֽךְ׃
10 “Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo, era bakabaka baabwe bakuweereze; Olw’obusungu bwange, nakukuba, naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
וּבָנ֤וּ בְנֵֽי־נֵכָר֙ חֹמֹתַ֔יִךְ וּמַלְכֵיהֶ֖ם יְשָׁרְת֑וּנֶךְ כִּ֤י בְקִצְפִּי֙ הִכִּיתִ֔יךְ וּבִרְצוֹנִ֖י רִֽחַמְתִּֽיךְ׃
11 Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo, emisana n’ekiro tegiggalwenga, abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
וּפִתְּח֨וּ שְׁעָרַ֧יִךְ תָּמִ֛יד יוֹמָ֥ם וָלַ֖יְלָה לֹ֣א יִסָּגֵ֑רוּ לְהָבִ֤יא אֵלַ֙יִךְ֙ חֵ֣יל גּוֹיִ֔ם וּמַלְכֵיהֶ֖ם נְהוּגִֽים׃
12 Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira. Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
כִּֽי־הַגּ֧וֹי וְהַמַּמְלָכָ֛ה אֲשֶׁ֥ר לֹא־יַעַבְד֖וּךְ יֹאבֵ֑דוּ וְהַגּוֹיִ֖ם חָרֹ֥ב יֶחֱרָֽבוּ׃
13 “Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, emiti egy’ettendo egy’enfugo, omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange, ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
כְּב֤וֹד הַלְּבָנוֹן֙ אֵלַ֣יִךְ יָב֔וֹא בְּר֛וֹשׁ תִּדְהָ֥ר וּתְאַשּׁ֖וּר יַחְדָּ֑ו לְפָאֵר֙ מְק֣וֹם מִקְדָּשִׁ֔י וּמְק֥וֹם רַגְלַ֖י אֲכַבֵּֽד׃
14 Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira; era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo. Balikuyita kibuga kya Katonda, Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
וְהָלְכ֨וּ אֵלַ֤יִךְ שְׁח֙וֹחַ֙ בְּנֵ֣י מְעַנַּ֔יִךְ וְהִֽשְׁתַּחֲו֛וּ עַל־כַּפּ֥וֹת רַגְלַ֖יִךְ כָּל־מְנַֽאֲצָ֑יִךְ וְקָ֤רְאוּ לָךְ֙ עִ֣יר יְהוָ֔ה צִיּ֖וֹן קְד֥וֹשׁ יִשְׂרָאֵֽל׃
15 “Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa, nga tewali n’omu akuyitamu, ndikufuula ow’ettendo, essanyu ery’emirembe gyonna.
תַּ֧חַת הֱיוֹתֵ֛ךְ עֲזוּבָ֥ה וּשְׂנוּאָ֖ה וְאֵ֣ין עוֹבֵ֑ר וְשַׂמְתִּיךְ֙ לִגְא֣וֹן עוֹלָ֔ם מְשׂ֖וֹשׂ דּ֥וֹר וָדֽוֹר׃
16 Olinywa amata ag’amawanga. Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga, era olimanyira ddala nti, Nze, nze Mukama, nze Mulokozi wo era Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.
וְיָנַקְתְּ֙ חֲלֵ֣ב גּוֹיִ֔ם וְשֹׁ֥ד מְלָכִ֖ים תִּינָ֑קִי וְיָדַ֗עַתְּ כִּ֣י אֲנִ֤י יְהוָה֙ מֽוֹשִׁיעֵ֔ךְ וְגֹאֲלֵ֖ךְ אֲבִ֥יר יַעֲקֹֽב׃
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu, mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza, mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma. Emirembe gye girifuuka omufuzi wo n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
תַּ֣חַת הַנְּחֹ֜שֶׁת אָבִ֣יא זָהָ֗ב וְתַ֤חַת הַבַּרְזֶל֙ אָ֣בִיא כֶ֔סֶף וְתַ֤חַת הָֽעֵצִים֙ נְחֹ֔שֶׁת וְתַ֥חַת הָאֲבָנִ֖ים בַּרְזֶ֑ל וְשַׂמְתִּ֤י פְקֻדָּתֵךְ֙ שָׁל֔וֹם וְנֹגְשַׂ֖יִךְ צְדָקָֽה׃
18 Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo, wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo. Ebisenge byo olibiyita Bulokozi, Era n’enzigi zo, Kutendereza.
לֹא־יִשָּׁמַ֨ע ע֤וֹד חָמָס֙ בְּאַרְצֵ֔ךְ שֹׁ֥ד וָשֶׁ֖בֶר בִּגְבוּלָ֑יִךְ וְקָרָ֤את יְשׁוּעָה֙ חוֹמֹתַ֔יִךְ וּשְׁעָרַ֖יִךְ תְּהִלָּֽה׃
19 Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
לֹא־יִֽהְיֶה־לָּ֨ךְ ע֤וֹד הַשֶּׁ֙מֶשׁ֙ לְא֣וֹר יוֹמָ֔ם וּלְנֹ֕גַהּ הַיָּרֵ֖חַ לֹא־יָאִ֣יר לָ֑ךְ וְהָיָה־לָ֤ךְ יְהוָה֙ לְא֣וֹר עוֹלָ֔ם וֵאלֹהַ֖יִךְ לְתִפְאַרְתֵּֽךְ׃
20 Enjuba yo terigwa nate, n’omwezi gwo tegulibula; Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
לֹא־יָב֥וֹא עוֹד֙ שִׁמְשֵׁ֔ךְ וִירֵחֵ֖ךְ לֹ֣א יֵאָסֵ֑ף כִּ֣י יְהוָ֗ה יִֽהְיֶה־לָּךְ֙ לְא֣וֹר עוֹלָ֔ם וְשָׁלְמ֖וּ יְמֵ֥י אֶבְלֵֽךְ׃
21 Abantu bo babeere batuukirivu, ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe. Ekisimbe kye nnesimbira; omulimu gw’emikono gyange, olw’okulaga ekitiibwa kyange.
וְעַמֵּךְ֙ כֻּלָּ֣ם צַדִּיקִ֔ים לְעוֹלָ֖ם יִ֣ירְשׁוּ אָ֑רֶץ נֵ֧צֶר מטעו מַעֲשֵׂ֥ה יָדַ֖י לְהִתְפָּאֵֽר׃
22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi, n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi. Nze Mukama, ndikyanguya mu biseera byakyo.”
הַקָּטֹן֙ יִֽהְיֶ֣ה לָאֶ֔לֶף וְהַצָּעִ֖יר לְג֣וֹי עָצ֑וּם אֲנִ֥י יְהוָ֖ה בְּעִתָּ֥הּ אֲחִישֶֽׁנָּה׃ ס

< Isaaya 60 >