< Isaaya 58 >
1 Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka, tokisirikira. Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 Kubanga bannoonya buli lunaku era beegomba okumanya amakubo gange, nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe. Bambuuza ensala ennuŋŋamu, ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako? Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?” Musooke mulabe, ennaku ze musiiba muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 Njagala mulabe. Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo, n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde. Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama?
6 Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo, n’okuta abo abanyigirizibwa, n’okumenya buli kikoligo?
7 Si kugabira bayala ku mmere yo, n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu; olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano. “Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 bw’olyewaayo okuyamba abayala n’odduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika era baddemu okuzimba emisingi egy’edda. Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka, omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
13 “Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti, obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu, bw’onooluyitanga olw’essanyu era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa, singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
14 awo olifuna essanyu eriva eri Mukama era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo” Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.