< Isaaya 57 >

1 Abantu abatuukirivu bazikirira, naye tewali akirowoozako n’akatono. Abantu abeewaddeyo eri Katonda batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako. Kubanga omutuukirivu aggyibwawo olw’akabi akagenda okujja.
הַצַּדִּ֣יק אָבָ֔ד וְאֵ֥ין אִ֖ישׁ שָׂ֣ם עַל־לֵ֑ב וְאַנְשֵׁי־חֶ֤סֶד נֶֽאֱסָפִים֙ בְּאֵ֣ין מֵבִ֔ין כִּֽי־מִפְּנֵ֥י הָרָעָ֖ה נֶאֱסַ֥ף הַצַּדִּֽיק׃
2 Ayingira mu mirembe n’afuna okuwummulira mu kufa kwe, ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.
יָבֹ֣וא שָׁלֹ֔ום יָנ֖וּחוּ עַל־מִשְׁכְּבֹותָ֑ם הֹלֵ֖ךְ נְכֹחֹֽו׃
3 “Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
וְאַתֶּ֥ם קִרְבוּ־הֵ֖נָּה בְּנֵ֣י עֹנְנָ֑ה זֶ֥רַע מְנָאֵ֖ף וַתִּזְנֶֽה׃
4 Muzannyira ku ani? Ani gwe mukongoola ne mumusoomooza? Temuli baana ba bujeemu, ezzadde eryobulimba?
עַל־מִי֙ תִּתְעַנָּ֔גוּ עַל־מִ֛י תַּרְחִ֥יבוּ פֶ֖ה תַּאֲרִ֣יכוּ לָשֹׁ֑ון הֲלֹֽוא־אַתֶּ֥ם יִלְדֵי־פֶ֖שַׁע זֶ֥רַע שָֽׁקֶר׃
5 Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti na buli wansi wa buli muti oguyimiridde; mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu ne wansi w’enjatika z’enjazi.
הַנֵּֽחָמִים֙ בָּֽאֵלִ֔ים תַּ֖חַת כָּל־עֵ֣ץ רַעֲנָ֑ן שֹׁחֲטֵ֤י הַיְלָדִים֙ בַּנְּחָלִ֔ים תַּ֖חַת סְעִפֵ֥י הַסְּלָעִֽים׃
6 Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu gosinziza mu biwonvu, abo be babo, obusika bwo; abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa era n’ebiweebwayo eby’empeke. Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
בְּחַלְּקֵי־נַ֣חַל חֶלְקֵ֔ךְ הֵ֥ם הֵ֖ם גֹּורָלֵ֑ךְ גַּם־לָהֶ֞ם שָׁפַ֥כְתְּ נֶ֙סֶךְ֙ הֶעֱלִ֣ית מִנְחָ֔ה הַ֥עַל אֵ֖לֶּה אֶנָּחֵֽם׃
7 Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
עַ֤ל הַר־גָּבֹ֙הַּ֙ וְנִשָּׂ֔א שַׂ֖מְתְּ מִשְׁכָּבֵ֑ךְ גַּם־שָׁ֥ם עָלִ֖ית לִזְבֹּ֥חַ זָֽבַח׃
8 Emabega w’enzigi zammwe we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza. Mwandeka ne mukola eby’obuwemu mu bitanda byammwe ebigazi. Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
וְאַחַ֤ר הַדֶּ֙לֶת֙ וְהַמְּזוּזָ֔ה שַׂ֖מְתְּ זִכְרֹונֵ֑ךְ כִּ֣י מֵאִתִּ֞י גִּלִּ֣ית וַֽתַּעֲלִ֗י הִרְחַ֤בְתְּ מִשְׁכָּבֵךְ֙ וַתִּכְרָת־לָ֣ךְ מֵהֶ֔ם אָהַ֥בְתְּ מִשְׁכָּבָ֖ם יָ֥ד חָזִֽית׃
9 Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo, n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda, kumpi batuuke n’emagombe. (Sheol h7585)
וַתָּשֻׁ֤רִי לַמֶּ֙לֶךְ֙ בַּשֶּׁ֔מֶן וַתַּרְבִּ֖י רִקֻּחָ֑יִךְ וַתְּשַׁלְּחִ֤י צִרַ֙יךְ֙ עַד־מֵ֣רָחֹ֔ק וַתַּשְׁפִּ֖ילִי עַד־שְׁאֹֽול׃ (Sheol h7585)
10 Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo naye teweegamba nako nti, ‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’ Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
בְּרֹ֤ב דַּרְכֵּךְ֙ יָגַ֔עַתְּ לֹ֥א אָמַ֖רְתְּ נֹואָ֑שׁ חַיַּ֤ת יָדֵךְ֙ מָצָ֔את עַל־כֵּ֖ן לֹ֥א חָלִֽית׃
11 “B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza, n’olyoka olimba, nze n’otonzijukira n’akatono wadde okundowoozaako? Olw’okubanga nsirise n’esikunyega ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
וְאֶת־מִ֞י דָּאַ֤גְתְּ וַתִּֽירְאִי֙ כִּ֣י תְכַזֵּ֔בִי וְאֹותִי֙ לֹ֣א זָכַ֔רְתְּ לֹא־שַׂ֖מְתְּ עַל־לִבֵּ֑ךְ הֲלֹ֨א אֲנִ֤י מַחְשֶׁה֙ וּמֵ֣עֹלָ֔ם וְאֹותִ֖י לֹ֥א תִירָֽאִי׃
12 Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola, naye tebigenda kukugasa.
אֲנִ֥י אַגִּ֖יד צִדְקָתֵ֑ךְ וְאֶֽת־מַעֲשַׂ֖יִךְ וְלֹ֥א יֹועִילֽוּךְ׃
13 Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi, leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule; naye empewo eribatwala, omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna. Naye oyo anfuula ekiddukiro kye alirya ensi era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
בְּזַֽעֲקֵךְ֙ יַצִּילֻ֣ךְ קִבּוּצַ֔יִךְ וְאֶת־כֻּלָּ֥ם יִשָּׂא־ר֖וּחַ יִקַּח־הָ֑בֶל וְהַחֹוסֶ֥ה בִי֙ יִנְחַל־אֶ֔רֶץ וְיִירַ֖שׁ הַר־קָדְשִֽׁי׃
14 Era kiryogerwa nti, “Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo! Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
וְאָמַ֥ר סֹֽלּוּ־סֹ֖לּוּ פַּנּוּ־דָ֑רֶךְ הָרִ֥ימוּ מִכְשֹׁ֖ול מִדֶּ֥רֶךְ עַמִּֽי׃ ס
15 Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.
כִּי֩ כֹ֨ה אָמַ֜ר רָ֣ם וְנִשָּׂ֗א שֹׁכֵ֥ן עַד֙ וְקָדֹ֣ושׁ שְׁמֹ֔ו מָרֹ֥ום וְקָדֹ֖ושׁ אֶשְׁכֹּ֑ון וְאֶת־דַּכָּא֙ וּשְׁפַל־ר֔וּחַ לְהַחֲיֹות֙ ר֣וּחַ שְׁפָלִ֔ים וּֽלְהַחֲיֹ֖ות לֵ֥ב נִדְכָּאִֽים׃
16 Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe era siribasunguwalira bbanga lyonna. Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba, emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
כִּ֣י לֹ֤א לְעֹולָם֙ אָרִ֔יב וְלֹ֥א לָנֶ֖צַח אֶקְּצֹ֑וף כִּי־ר֙וּחַ֙ מִלְּפָנַ֣י יַֽעֲטֹ֔וף וּנְשָׁמֹ֖ות אֲנִ֥י עָשִֽׂיתִי׃
17 Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu. Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
בַּעֲוֹ֥ן בִּצְעֹ֛ו קָצַ֥פְתִּי וְאַכֵּ֖הוּ הַסְתֵּ֣ר וְאֶקְצֹ֑ף וַיֵּ֥לֶךְ שֹׁובָ֖ב בְּדֶ֥רֶךְ לִבֹּֽו׃
18 Nalaba by’akola, naye ndimuwonya. Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
דְּרָכָ֥יו רָאִ֖יתִי וְאֶרְפָּאֵ֑הוּ וְאַנְחֵ֕הוּ וַאֲשַׁלֵּ֧ם נִֽחֻמִ֛ים לֹ֖ו וְלַאֲבֵלָֽיו׃
19 Mirembe, era mirembe, eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi, era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
בֹּורֵ֖א נוּב (נִ֣יב) שְׂפָתָ֑יִם שָׁלֹ֨ום ׀ שָׁלֹ֜ום לָרָחֹ֧וק וְלַקָּרֹ֛וב אָמַ֥ר יְהוָ֖ה וּרְפָאתִֽיו׃
20 Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse, eteyinza kutereera, ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
וְהָרְשָׁעִ֖ים כַּיָּ֣ם נִגְרָ֑שׁ כִּ֤י הַשְׁקֵט֙ לֹ֣א יוּכָ֔ל וַיִּגְרְשׁ֥וּ מֵימָ֖יו רֶ֥פֶשׁ וָטִֽיט׃
21 “Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
אֵ֣ין שָׁלֹ֔ום אָמַ֥ר אֱלֹהַ֖י לָרְשָׁעִֽים׃ ס

< Isaaya 57 >