< Isaaya 56 >
1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.
2 Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweererako. Akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so n’omulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.”
4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, ne bakuuma endagaano yange,
5 amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Ndibawa erinnya eritaliggwaawo ery’emirembe n’emirembe.
6 N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama, okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama era n’okubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange,
7 bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
8 Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
9 Mukama agamba amawanga amalala okujja ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi.
11 Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 Bagambagana nti, “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire. N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero, oba n’okusingawo.”