< Isaaya 55 >
1 “Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula.
Omnes sitientes, venite ad aquas, et qui non habetis argentum, properate, emite, et comedite: venite, emite absque argento et absque ulla commutatione vinum et lac.
2 Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya muteganira ebyo ebitakkusa? Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi, emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
Quare appenditis argentum non in panibus, et laborem vestrum non in saturitate? Audite, audientes me, et comedite bonum, et delectabitur in crassitudine anima vestra.
3 Mumpulirize mujje gye ndi. Muwulirize mubeere balamu; nnaabakolera endagaano ey’olubeerera, era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
Inclinate aurem vestram, et venite ad me; audite, et vivet anima vestra, et feriam vobiscum pactum sempiternum, misericordias David fideles.
4 Laba namufuula omujulirwa eri abantu, omukulembeze era omugabe w’abantu.
Ecce testem populis dedi eum, ducem ac præceptorem gentibus.
5 Laba oliyita amawanga g’otomanyi, era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli. Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo era Omutukuvu wa Isirayiri kubanga akugulumizza.”
Ecce gentem quam nesciebas vocabis, et gentes quæ te non cognoverunt ad te current, propter Dominum Deum tuum, et Sanctum Israël, quia glorificavit te.
6 Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
Quærite Dominum dum inveniri potest; invocate eum dum prope est.
7 Omubi aleke ekkubo lye, n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala.
Derelinquat impius viam suam, et vir iniquus cogitationes suas, et revertatur ad Dominum, et miserebitur ejus; et ad Deum nostrum, quoniam multus est ad ignoscendum.
8 “Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,” bw’ayogera Mukama.
Non enim cogitationes meæ cogitationes vestræ, neque viæ vestræ viæ meæ, dicit Dominus.
9 “Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
Quia sicut exaltantur cæli a terra, sic exaltatæ sunt viæ meæ a viis vestris, et cogitationes meæ a cogitationibus vestris.
10 Era ng’enkuba bwetonnya n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu n’ebitaddayo, wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, ne bimerusa ensigo z’omusizi, era ne biwa omuli emmere,
Et quomodo descendit imber et nix de cælo, et illuc ultra non revertitur, sed inebriat terram, et infundit eam, et germinare eam facit, et dat semen serenti, et panem comedenti:
11 bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
sic erit verbum meum quod egredietur de ore meo; non revertetur ad me vacuum, sed faciet quæcumque volui, et prosperabitur in his ad quæ misi illud.
12 Kubanga mulifuluma n’essanyu ne mugenda mirembe, ensozi n’obusozi nabyo ne bitandika okuyimba nga bibalabye, n’emiti gyonna ne gitendereza n’essanyu.
Quia in lætitia egrediemini, et in pace deducemini; montes et colles cantabunt coram vobis laudem, et omnia ligna regionis plaudent manu.
13 Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya, ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi. Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo ak’emirembe n’emirembe.”
Pro saliunca ascendet abies, et pro urtica crescet myrtus; et erit Dominus nominatus in signum æternum quod non auferetur.