< Isaaya 54 >
1 “Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bw’ayogera Mukama.
2 “Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo, tokwata mpola; nyweza enkondo zo.
3 Kubanga olisaasaanira ku mukono gwo ogwa ddyo era n’ogwa kkono, n’ezzadde lyo lirirya amawanga, era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
4 “Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
6 Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,” bw’ayogera Katonda wo.
7 “Nakulekako akaseera katono nnyo; naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata nakweka amaaso gange okumala ekiseera, naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,” bw’ayogera Mukama Katonda, Omununuzi wo.
9 “Kubanga gye ndi, bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa. Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so n’endagaano yange ey’emirembe teriggyibwawo,” bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
11 Mukama agamba nti, “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe; laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi, emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu, n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo, ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi. Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 Laba nze natonda omuweesi, awujja amanda agaliko omuliro n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo. Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17 Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
A Dove is Sent Forth from the Ark