< Isaaya 53 >

1 Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
quis credidit auditui nostro et brachium Domini cui revelatum est
2 Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
et ascendet sicut virgultum coram eo et sicut radix de terra sitienti non est species ei neque decor et vidimus eum et non erat aspectus et desideravimus eum
3 Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
despectum et novissimum virorum virum dolorum et scientem infirmitatem et quasi absconditus vultus eius et despectus unde nec reputavimus eum
4 Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
vere languores nostros ipse tulit et dolores nostros ipse portavit et nos putavimus eum quasi leprosum et percussum a Deo et humiliatum
5 Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.
ipse autem vulneratus est propter iniquitates nostras adtritus est propter scelera nostra disciplina pacis nostrae super eum et livore eius sanati sumus
6 Ffenna twawaba ng’endiga; buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye; Mukama n’amuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
omnes nos quasi oves erravimus unusquisque in viam suam declinavit et Dominus posuit in eo iniquitatem omnium nostrum
7 Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika, bw’atyo bwe yasirika.
oblatus est quia ipse voluit et non aperuit os suum sicut ovis ad occisionem ducetur et quasi agnus coram tondente obmutescet et non aperiet os suum
8 Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi y’abalamu, ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
de angustia et de iudicio sublatus est generationem eius quis enarrabit quia abscisus est de terra viventium propter scelus populi mei percussit eum
9 Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi, n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.
et dabit impios pro sepultura et divitem pro morte sua eo quod iniquitatem non fecerit neque dolus fuerit in ore eius
10 Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era n’okumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
et Dominus voluit conterere eum in infirmitate si posuerit pro peccato animam suam videbit semen longevum et voluntas Domini in manu eius dirigetur
11 Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe, bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
pro eo quod laboravit anima eius videbit et saturabitur in scientia sua iustificabit ipse iustus servus meus multos et iniquitates eorum ipse portabit
12 Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi. Era yeetikka ebibi by’abangi era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.
ideo dispertiam ei plurimos et fortium dividet spolia pro eo quod tradidit in morte animam suam et cum sceleratis reputatus est et ipse peccatum multorum tulit et pro transgressoribus rogavit

< Isaaya 53 >