< Isaaya 52 >
1 Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
2 Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi. Weesumulule enjegere mu bulago bwo, ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mwatundibwa bwereere era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
4 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
5 “Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bw’ayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna.
6 Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. Weewaawo, Nze.”
7 Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
8 Wuliriza! Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olw’essanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
9 Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
10 Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, bagulabe. Enkomerero z’ensi zonna ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
11 Mugende, mugende muveewo awo. Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. Mukifulumemu mubeere balongoofu mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 Naye temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo; Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.
13 Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14 Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15 bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi; bakabaka balibunira ku lulwe; kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.