< Isaaya 51 >
1 “Mumpulirize, mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
2 Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala. Kubanga we namuyitira yali bw’omu ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni; akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama; Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
4 “Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu mmwe ensi yange. Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
5 Obutuukirivu bwange busembera mangu nnyo, obulokozi bwange buli mu kkubo. Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga. Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
6 Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, mutunuulire ensi wansi! Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo. Abagituulamu balifa ng’ensowera. Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 “Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mitima gyammwe. Temutya kuvumibwa bantu wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
8 Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo. N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga. Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna. Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
9 Zuukuka, zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda. Kozesa amaanyi go otuyambe. Gakozese nga edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi? Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo ne gafuuka ekkubo abantu be wanunula bayitewo?
11 N’abo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
12 “Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 ne weerabira Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, n’ateekawo n’emisingi gy’ensi, ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya obusungu bw’abo abakunyigiriza, oyo eyemalidde mu kuzikiriza? Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14 Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa, tebalifiira mu bunnya, era tebalibulwa mmere gye balya.
15 Kubanga nze Mukama Katonda wo, asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma: Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!’”
17 Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe, eyanywa n’omaliramu ddala ekibya ekitagaza.
18 Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala tewali n’omu wa kumukulembera. Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 Ebintu bino ebibiri bikuguddeko ani anaakunakuwalirako? Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala, ani anaakubeesabeesa?
20 Batabani bo bazirise, bagudde ku buli nsonda y’oluguudo ng’engabi egudde mu kitimba. Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama, n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21 Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wo alwanirira abantu be. “Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza. Temuliddayo kukinywa nate.
23 Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti, ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’ Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka, ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”