< Isaaya 50 >

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? Oba nabatunda eri ani? Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
Thus says Jehovah, "Where is the bill of your mother's divorce, with which I have put her away? or which of my creditors is it to whom I have sold you? Look, for your iniquities were you sold, and for your transgressions was your mother put away.
2 Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu? Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula? Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? Mbuliddwa amaanyi agakununula? Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira, emigga ne ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta, ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
Why, when I came, was there no man? When I called, was there none to answer? Is my hand shortened at all, that it can't redeem? or have I no power to deliver? Look, at my rebuke I dry up the sea, I make the rivers a wilderness: their fish stink, because there is no water, and die for thirst.
3 Nyambaza eggulu, n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”
I clothe the heavens with blackness, and I make sackcloth their covering."
4 Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. Anzukusa buli nkya, buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
Jehovah has given me the tongue of those who are taught, that I may know how to sustain with a word him who is weary: he wakens morning by morning, he wakens my ear to hear as those who are taught.
5 Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange ne siba mujeemu. Sizzeeyo mabega.
Jehovah has opened my ear, and I was not rebellious, neither turned away backward.
6 N’awaayo omugongo gwange eri abankuba, n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. Saakweka maaso gange eri abo abansekerera n’eri abo abanfujjira amalusu.
I gave my back to those who strike, and my cheeks to those who tore out my beard; I did not cover my face from insults and spitting.
7 Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba kyennaava siswazibwa. Noolwekyo kyenvudde n’egumya era mmanyi nti siriswazibwa.
But Jehovah will help me; therefore I have not been confounded: therefore have I set my face like a flint, and I know that I shall not be disappointed.
8 Kubanga oyo ampolereza ali kumpi. Ani alinnumiriza omusango? Twolekagane obwenyi. Ani annumiriza? Ajje annumbe.
He is near who justifies me; who will bring charges against me? Let us stand up together: who is my adversary? Let him come near to me.
9 Mukama Ayinzabyonna y’anyamba. Ani alinsalira omusango? Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo; ennyenje ziribalya.
Look, Jehovah will help me; who is he who shall condemn me? Look, all they shall wax old as a garment, the moth shall eat them up.
10 Ani ku mmwe atya Mukama, agondera ekigambo ky’omuweereza we? Oyo atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala yeesige erinnya lya Mukama era yeesigame ku Katonda we.
Who is among you who fears Jehovah, who listens to the voice of his servant? He who walks in darkness, and has no light, let him trust in the name of Jehovah, and rely on his God.
11 Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro, ne mwekoleereza ettaala z’omuliro, mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe, ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza. Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange; muligalamira mu nnaku.
Look, all you who kindle a fire, who adorn yourselves with flaming arrows around yourselves; walk in the light of your fire, and among the flaming arrows that you have kindled. You shall have this of my hand; you shall lie down in sorrow.

< Isaaya 50 >