< Isaaya 5 >

1 Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu. Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu ku lusozi olugimu.
אשירה נא לידידי שירת דודי לכרמו כרם היה לידידי בקרן בן שמן׃
2 Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna, n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi. Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa. N’agisimamu n’essogolero n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
ויעזקהו ויסקלהו ויטעהו שרק ויבן מגדל בתוכו וגם יקב חצב בו ויקו לעשות ענבים ויעש באשים׃
3 “Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda, munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
ועתה יושב ירושלם ואיש יהודה שפטו נא ביני ובין כרמי׃
4 Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno, kye ssaagikolera? Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi, lwaki saalabamu mirungi?
מה לעשות עוד לכרמי ולא עשיתי בו מדוע קויתי לעשות ענבים ויעש באשים׃
5 Kaakano muleke mbabuulire kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu. Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke. Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
ועתה אודיעה נא אתכם את אשר אני עשה לכרמי הסר משוכתו והיה לבער פרץ גדרו והיה למרמס׃
6 Era ndigireka n’ezika, sirigirima wadde okugisalira. Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa. Ndiragira n’ebire obutatonnyesaamu nkuba.
ואשיתהו בתה לא יזמר ולא יעדר ועלה שמיר ושית ועל העבים אצוה מהמטיר עליו מטר׃
7 Ennyumba ya Isirayiri y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu. Abantu ba Yuda y’ennimiro gye yasiima. Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
כי כרם יהוה צבאות בית ישראל ואיש יהודה נטע שעשועיו ויקו למשפט והנה משפח לצדקה והנה צעקה׃
8 Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina, n’ennimiro ne muzongerako endala ne wataba kafo konna kasigadde, ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
הוי מגיעי בית בבית שדה בשדה יקריבו עד אפס מקום והושבתם לבדכם בקרב הארץ׃
9 Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti, “Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa, n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
באזני יהוה צבאות אם לא בתים רבים לשמה יהיו גדלים וטובים מאין יושב׃
10 Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu, n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
כי עשרת צמדי כרם יעשו בת אחת וזרע חמר יעשה איפה׃
11 Zibasanze abo abakeera enkya ku makya banoonye ekitamiiza, abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde, okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
הוי משכימי בבקר שכר ירדפו מאחרי בנשף יין ידליקם׃
12 Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere, n’omwenge ku mbaga zaabwe; naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda, wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
והיה כנור ונבל תף וחליל ויין משתיהם ואת פעל יהוה לא יביטו ומעשה ידיו לא ראו׃
13 Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse kubanga tebalina kutegeera. Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala, n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
לכן גלה עמי מבלי דעת וכבודו מתי רעב והמונו צחה צמא׃
14 Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago, era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu. (Sheol h7585)
לכן הרחיבה שאול נפשה ופערה פיה לבלי חק וירד הדרה והמונה ושאונה ועלז בה׃ (Sheol h7585)
15 Buli muntu alitoowazibwa, abantu bonna balikkakkanyizibwa era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
וישח אדם וישפל איש ועיני גבהים תשפלנה׃
16 Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
ויגבה יהוה צבאות במשפט והאל הקדוש נקדש בצדקה׃
17 Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo, n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
ורעו כבשים כדברם וחרבות מחים גרים יאכלו׃
18 Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
הוי משכי העון בחבלי השוא וכעבות העגלה חטאה׃
19 Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola. Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje, zituuke nazo tuzimanye.”
האמרים ימהר יחישה מעשהו למען נראה ותקרב ותבואה עצת קדוש ישראל ונדעה׃
20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n’ekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, n’ekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
הוי האמרים לרע טוב ולטוב רע שמים חשך לאור ואור לחשך שמים מר למתוק ומתוק למר׃
21 Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi, era abagezigezi bo nga bwe balaba.
הוי חכמים בעיניהם ונגד פניהם נבנים׃
22 Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge era mu kutabula ekitamiiza,
הוי גבורים לשתות יין ואנשי חיל למסך שכר׃
23 abejjeereza abatemu olw’enguzi era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.
מצדיקי רשע עקב שחד וצדקת צדיקים יסירו ממנו׃
24 Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda, era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu; kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye, era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
לכן כאכל קש לשון אש וחשש להבה ירפה שרשם כמק יהיה ופרחם כאבק יעלה כי מאסו את תורת יהוה צבאות ואת אמרת קדוש ישראל נאצו׃
25 Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be, n’agolola omukono gwe n’abasanjaga, ensozi ne zikankana era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo. Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana era omukono gwe gukyagoloddwa.
על כן חרה אף יהוה בעמו ויט ידו עליו ויכהו וירגזו ההרים ותהי נבלתם כסוחה בקרב חוצות בכל זאת לא שב אפו ועוד ידו נטויה׃
26 Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera, alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi, era laba, balyanguwako okujja.
ונשא נס לגוים מרחוק ושרק לו מקצה הארץ והנה מהרה קל יבוא׃
27 Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala. Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka. Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye, wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
אין עיף ואין כושל בו לא ינום ולא יישן ולא נפתח אזור חלציו ולא נתק שרוך נעליו׃
28 Obusaale bwabwe bwogi, n’emitego gyabwe gyonna mireege. Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale, Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
אשר חציו שנונים וכל קשתתיו דרכות פרסות סוסיו כצר נחשבו וגלגליו כסופה׃
29 Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma, balikaaba ng’empologoma ento: weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe bagutwalire ddala awatali adduukirira.
שאגה לו כלביא ושאג ככפירים וינהם ויאחז טרף ויפליט ואין מציל׃
30 Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe ng’ennyanja eyira. Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi, aliraba ekizikiza n’ennaku; n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.
וינהם עליו ביום ההוא כנהמת ים ונבט לארץ והנה חשך צר ואור חשך בעריפיה׃

< Isaaya 5 >