< Isaaya 49 >
1 Mumpulirize mmwe ebizinga, mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
2 Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi, nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe. Yanfuula akasaale akazigule era nankweka mu mufuko gwe.
3 Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri, mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
4 Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere, amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa. Kyokka ate Mukama yannamula, n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
5 Era kaakano Mukama ayogera, oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we, okukomyawo Yakobo gy’ali era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali. Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
6 Mukama agamba nti, “Eky’okubeera omuweereza wange n’okuzza amawanga ga Yakobo era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo. Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga, eri omuweereza w’abafuzi nti, “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, oyo akulonze.”
8 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira, ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba. Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu, muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’ “Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo, ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 Laba, abantu bange balidda okuva ewala, abamu, baliva mu bukiikakkono n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”
13 Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese, era Mukama wange anneerabidde.”
15 “Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa, n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira naye nze sirikwerabira.
16 Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange; ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli. Nga bwe ndi Katonda omulamu, balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 “Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa, kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo, era abo abakuteganya banaakubeeranga wala.
20 Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse lumu balyogera ng’owulira nti, ‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti, ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba. Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. Bano baava ludda wa? Nasigala nzekka, naye ate bano, baava wa?’”
22 Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero era ndiyimusiza abantu ebbendera yange: era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire, ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa. Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi; balikomba enfuufu y’omu bigere byo. Olwo lw’olimanya nti nze Mukama, abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
24 Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi, oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 Naye bw’ati bw’ayogera Mukama: “N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe, n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo, kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe, era ndirokola mponye abaana bo.
26 Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo. Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini. Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo, Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.”