< Isaaya 47 >
1 “Omuwala wa Babulooni embeerera, kakkana wansi otuule mu nfuufu, tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w’Abakaludaaya. Ekibuga ekitawangulwangako. Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
2 Ddira olubengo ose obutta. Ggyako akatimba ku maaso, situla ku ngoye z’oku magulu oyite mu mazzi.
3 Obwereere bwo bulibikkulwa; obusungu bwo bulyeraga. Nzija kuwoolera eggwanga; tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”
4 Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye, ye Mutukuvu wa Isirayiri.
5 “Tuula mu kasirise yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya, tebakyakuyita kabaka omukazi afuga obwakabaka obungi.
6 Nnali nsunguwalidde abantu bange, ne nyonoonesa omugabo gwange. Nabawaayo mu mikono gyo, n’otobasaasira n’akatono. N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
7 Wayogera nti, ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’ naye n’otolowooza ku bintu bino wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8 “Kale nno kaakano wuliriza kino, ggwe awoomerwa amasanyu ggwe ateredde mu mirembe gyo, ng’oyogera mu mutima gwo nti, ‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze. Siribeera nnamwandu wadde okufiirwa abaana.’
9 Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu, eky’okufiirwa abaana n’okufuuka nnamwandu. Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu, newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira, n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 Weesiga obutali butuukirivu bwo, n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya, bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 Kyokka ensasagge erikujjira era tolimanya ngeri yakugyeggyako; n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi; akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
12 “Weeyongere nno n’obulogo bwo n’obufumu bwo obwayinga obungi, bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo. Oboolyawo olibaako kyoggyamu, oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya. Abalagulira ku munyeenye basembera, n’abo abakebera emmunyeenye, era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 Laba, bali ng’ebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogw’okwota!
15 Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; b’obonyeebonye nabo b’oteganidde okuva mu buto bwo. Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye era tewali n’omu ayinza okukulokola.”