< Isaaya 46 >

1 Beri avunnama, Nebo akutamye! Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte. Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
Bel crouches; Nebo cowers. Their idols weigh down beasts and cattle. The images you carry are burdensome, a load to the weary animal.
2 Bikutamye byonna bivuunamye. Tebiyinza kuyamba ku mbeera, byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
The gods cower; they crouch together, unable to relieve the burden; but they themselves go into captivity.
3 “Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
“Listen to Me, O house of Jacob, all the remnant of the house of Israel, who have been sustained from the womb, carried along since birth.
4 Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
Even to your old age, I will be the same, and I will bear you up when you turn gray. I have made you, and I will carry you; I will sustain you and deliver you.
5 “Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
To whom will you liken Me or count Me equal? To whom will you compare Me, that we should be alike?
6 Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza.
They pour out their bags of gold and weigh out silver on scales; they hire a goldsmith to fashion it into a god, so they can bow down and worship.
7 Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga. N’ayimirira awo, n’atava mu kifo kye. Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
They lift it to their shoulder and carry it along; they set it in its place, and there it stands, not budging from that spot. They cry out to it, but it does not answer; it saves no one from his troubles.
8 “Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe. Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
Remember this and be brave; take it to heart, you transgressors!
9 Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze;
Remember what happened long ago, for I am God, and there is no other; I am God, and there is none like Me.
10 alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
I declare the end from the beginning, and ancient times from what is still to come. I say, ‘My purpose will stand, and all My good pleasure I will accomplish.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
I summon a bird of prey from the east, a man for My purpose from a far-off land. Truly I have spoken, and truly I will bring it to pass. I have planned it, and I will surely do it.
12 Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
Listen to Me, you stubborn people, far removed from righteousness:
13 Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, tebuli wala. N’obulokozi bwange tebuulwewo. Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
I am bringing My righteousness near; it is not far away, and My salvation will not be delayed. I will grant salvation to Zion and adorn Israel with My splendor.

< Isaaya 46 >