< Isaaya 45 >

1 “Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta, oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo okujeemulula amawanga mu maaso ge era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe, okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso, emiryango eminene gireme kuggalwawo.
כה אמר יהוה למשיחו לכורש אשר החזקתי בימינו לרד לפניו גוים ומתני מלכים אפתח לפתח לפניו דלתים ושערים לא יסגרו׃
2 Ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebigulumivu. Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
אני לפניך אלך והדורים אושר דלתות נחושה אשבר ובריחי ברזל אגדע׃
3 Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama olyoke omanye nga nze Mukama, Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
ונתתי לך אוצרות חשך ומטמני מסתרים למען תדע כי אני יהוה הקורא בשמך אלהי ישראל׃
4 Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange kyenvudde nkuyita erinnya, ne nkuwa ekitiibwa wadde nga tonzisaako mwoyo.
למען עבדי יעקב וישראל בחירי ואקרא לך בשמך אכנך ולא ידעתני׃
5 Nze Mukama, tewali mulala. Tewali katonda mulala wabula nze. Ndikuwa amaanyi wadde nga tonzisaako mwoyo,
אני יהוה ואין עוד זולתי אין אלהים אאזרך ולא ידעתני׃
6 balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama, tewali mulala.
למען ידעו ממזרח שמש וממערבה כי אפס בלעדי אני יהוה ואין עוד׃
7 Nze nteekawo ekitangaala ne ntonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.
יוצר אור ובורא חשך עשה שלום ובורא רע אני יהוה עשה כל אלה׃
8 “Mmwe eggulu eriri waggulu, mutonnyese obutuukirivu. Ebire bitonnyese obutuukirivu. Ensi egguke n’obulokozi bumeruke, ereete obutuukirivu. Nze Mukama nze nagitonda.
הרעיפו שמים ממעל ושחקים יזלו צדק תפתח ארץ ויפרו ישע וצדקה תצמיח יחד אני יהוה בראתיו׃
9 “Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we! Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi. Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, ‘Obumba ki?’ Oba omulimu gwo okukubuuza nti, ‘Aliko emikono?’
הוי רב את יצרו חרש את חרשי אדמה היאמר חמר ליצרו מה תעשה ופעלך אין ידים לו׃
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, ‘Wazaala ki?’ Oba nnyina nti, ‘Kiki ky’ozadde?’
הוי אמר לאב מה תוליד ולאשה מה תחילין׃
11 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri era Omutonzi we nti, ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
כה אמר יהוה קדוש ישראל ויצרו האתיות שאלוני על בני ועל פעל ידי תצוני׃
12 Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
אנכי עשיתי ארץ ואדם עליה בראתי אני ידי נטו שמים וכל צבאם צויתי׃
13 Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu era nditereeza amakubo ge gonna. Alizimba ekibuga kyange n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; naye si lwa mpeera oba ekirabo,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
אנכי העירתהו בצדק וכל דרכיו אישר הוא יבנה עירי וגלותי ישלח לא במחיר ולא בשחד אמר יהוה צבאות׃
14 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa, n’abo Abasabeya abawanvu balijja babeere abaddu bo, bajje nga bakugoberera nga basibiddwa mu njegere. Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti, ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’”
כה אמר יהוה יגיע מצרים וסחר כוש וסבאים אנשי מדה עליך יעברו ולך יהיו אחריך ילכו בזקים יעברו ואליך ישתחוו אליך יתפללו אך בך אל ואין עוד אפס אלהים׃
15 Ddala oli Katonda eyeekweka, ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
אכן אתה אל מסתתר אלהי ישראל מושיע׃
16 Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa, balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
בושו וגם נכלמו כלם יחדו הלכו בכלמה חרשי צירים׃
17 Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama n’obulokozi obutaliggwaawo. Temuukwatibwenga nsonyi, temuuswalenga emirembe gyonna.
ישראל נושע ביהוה תשועת עולמים לא תבשו ולא תכלמו עד עולמי עד׃
18 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi n’agikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
כי כה אמר יהוה בורא השמים הוא האלהים יצר הארץ ועשה הוא כוננה לא תהו בראה לשבת יצרה אני יהוה ואין עוד׃
19 Soogereranga mu kyama, oba mu nsi eyeekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti, ‘Munoonyeze bwereere.’ Nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo eby’ensonga.
לא בסתר דברתי במקום ארץ חשך לא אמרתי לזרע יעקב תהו בקשוני אני יהוה דבר צדק מגיד מישרים׃
20 “Mwekuŋŋaanye mujje, mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga. Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje, abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
הקבצו ובאו התנגשו יחדו פליטי הגוים לא ידעו הנשאים את עץ פסלם ומתפללים אל אל לא יושיע׃
21 Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. Muteese muyambagane. Ani eyayogera nti kino kiribaawo? Ani eyakyogerako edda? Si nze Mukama? Tewali Katonda mulala wabula nze, Katonda omutuukirivu era Omulokozi, tewali mulala wabula nze.
הגידו והגישו אף יועצו יחדו מי השמיע זאת מקדם מאז הגידה הלוא אני יהוה ואין עוד אלהים מבלעדי אל צדיק ומושיע אין זולתי׃
22 “Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala.
פנו אלי והושעו כל אפסי ארץ כי אני אל ואין עוד׃
23 Neerayiridde, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima so tekiriggibwawo mu maaso gange. Buli vviivi lirifukamira, na buli lulimi lulirayira!
בי נשבעתי יצא מפי צדקה דבר ולא ישוב כי לי תכרע כל ברך תשבע כל לשון׃
24 Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’” Bonna abaamusunguwalira balijja gy’ali nga baswadde.
אך ביהוה לי אמר צדקות ועז עדיו יבוא ויבשו כל הנחרים בו׃
25 Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.
ביהוה יצדקו ויתהללו כל זרע ישראל׃

< Isaaya 45 >