< Isaaya 44 >

1 “Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza, ggwe Isirayiri gwe nalonda.
ועתה שמע יעקב עבדי וישראל בחרתי בו׃
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo, eyakutonda era eyakubumba mu lubuto, ajja kukuyamba. Totya ggwe Yakobo, omuweereza wange, ggwe Yesuruni gwe nalonda.
כה אמר יהוה עשך ויצרך מבטן יעזרך אל תירא עבדי יעקב וישרון בחרתי בו׃
3 Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu. Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo, era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
כי אצק מים על צמא ונזלים על יבשה אצק רוחי על זרעך וברכתי על צאצאיך׃
4 Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi, babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
וצמחו בבין חציר כערבים על יבלי מים׃
5 Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’ n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo, n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’ ne yeetuuma Isirayiri.
זה יאמר ליהוה אני וזה יקרא בשם יעקב וזה יכתב ידו ליהוה ובשם ישראל יכנה׃
6 “Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda ow’Eggye: Nze w’olubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.
כה אמר יהוה מלך ישראל וגאלו יהוה צבאות אני ראשון ואני אחרון ומבלעדי אין אלהים׃
7 Ani afaanana nga nze, akirangirire, eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo okuviira ddala ku ntandikwa? Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
ומי כמוני יקרא ויגידה ויערכה לי משומי עם עולם ואתיות ואשר תבאנה יגידו למו׃
8 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi. Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja? Mmwe bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda. Tewali Lwazi lulala, sirina lwe mmanyi.”
אל תפחדו ואל תרהו הלא מאז השמעתיך והגדתי ואתם עדי היש אלוה מבלעדי ואין צור בל ידעתי׃
9 Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa, era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa. Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi, balyoke bakwatibwe ensonyi.
יצרי פסל כלם תהו וחמודיהם בל יועילו ועדיהם המה בל יראו ובל ידעו למען יבשו׃
10 Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
מי יצר אל ופסל נסך לבלתי הועיל׃
11 Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi. N’ababazzi nabo bantu buntu. Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa. Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
הן כל חבריו יבשו וחרשים המה מאדם יתקבצו כלם יעמדו יפחדו יבשו יחד׃
12 Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro. Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge. Enjala emuluma, n’aggwaamu amaanyi, tanywa mazzi era akoowa.
חרש ברזל מעצד ופעל בפחם ובמקבות יצרהו ויפעלהו בזרוע כחו גם רעב ואין כח לא שתה מים וייעף׃
13 Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo era n’alamba n’ekkalaamu. Akinyiriza ne landa, n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera, n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana, kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
חרש עצים נטה קו יתארהו בשרד יעשהו במקצעות ובמחוגה יתארהו ויעשהו כתבנית איש כתפארת אדם לשבת בית׃
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira, oba n’asimba enkanaga, enkuba n’egikuza.
לכרת לו ארזים ויקח תרזה ואלון ויאמץ לו בעצי יער נטע ארן וגשם יגדל׃
15 Abantu bagukozesa ng’enku, ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya. Akuma omuliro n’afumba emigaati. Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza, akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
והיה לאדם לבער ויקח מהם ויחם אף ישיק ואפה לחם אף יפעל אל וישתחו עשהו פסל ויסגד למו׃
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro, ekitundu ekirala akyokesa ennyama n’agirya n’akutta. Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti, “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
חציו שרף במו אש על חציו בשר יאכל יצלה צלי וישבע אף יחם ויאמר האח חמותי ראיתי אור׃
17 Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda, ekifaananyi ekikole n’emikono, era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti, “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
ושאריתו לאל עשה לפסלו יסגוד לו וישתחו ויתפלל אליו ויאמר הצילני כי אלי אתה׃
18 Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera, amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba, n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
לא ידעו ולא יבינו כי טח מראות עיניהם מהשכיל לבתם׃
19 Tewali n’omu ayimirira n’alowooza, tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti, “Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro, era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo, njokezzaako n’ennyama n’engirya. Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo? Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
ולא ישיב אל לבו ולא דעת ולא תבונה לאמר חציו שרפתי במו אש ואף אפיתי על גחליו לחם אצלה בשר ואכל ויתרו לתועבה אעשה לבול עץ אסגוד׃
20 Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba, tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti, “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
רעה אפר לב הותל הטהו ולא יציל את נפשו ולא יאמר הלוא שקר בימיני׃
21 “Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo; oli muweereza wange ggwe Isirayiri. Nze nakubumba, oli muweereza wange, ggwe Isirayiri sirikwerabira.
זכר אלה יעקב וישראל כי עבדי אתה יצרתיך עבד לי אתה ישראל לא תנשני׃
22 Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
מחיתי כעב פשעיך וכענן חטאותיך שובה אלי כי גאלתיך׃
23 Yimba n’essanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze. Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi. Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. Mukama anunudde Yakobo era yeegulumiriza mu Isirayiri.
רנו שמים כי עשה יהוה הריעו תחתיות ארץ פצחו הרים רנה יער וכל עץ בו כי גאל יהוה יעקב ובישראל יתפאר׃
24 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto. “Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
כה אמר יהוה גאלך ויצרך מבטן אנכי יהוה עשה כל נטה שמים לבדי רקע הארץ מי אתי׃
25 asazaamu abalaguzi bye balagudde era abalogo abafuula abasirusiru. Asaabulula eby’abagezi n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
מפר אתות בדים וקסמים יהולל משיב חכמים אחור ודעתם ישכל׃
26 Anyweza ekigambo ky’omuweereza we n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange. “Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
מקים דבר עבדו ועצת מלאכיו ישלים האמר לירושלם תושב ולערי יהודה תבנינה וחרבותיה אקומם׃
27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira, era ndikaliza emigga gyo.’
האמר לצולה חרבי ונהרתיך אוביש׃
28 Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna.’ Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’”
האמר לכורש רעי וכל חפצי ישלם ולאמר לירושלם תבנה והיכל תוסד׃

< Isaaya 44 >