< Isaaya 43 >

1 Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
ועתה כה אמר יהוה בראך יעקב ויצרך ישראל אל תירא כי גאלתיך קראתי בשמך לי אתה׃
2 Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu nnaabeeranga naawe, ne bw’onooyitanga mu migga tegirikusaanyaawo; bw’onooyitanga mu muliro tegukwokyenga, ennimi z’omuliro tezirikwokya.
כי תעבר במים אתך אני ובנהרות לא ישטפוך כי תלך במו אש לא תכוה ולהבה לא תבער בך׃
3 Kubanga nze Mukama Katonda wo, Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo. Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa, era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
כי אני יהוה אלהיך קדוש ישראל מושיעך נתתי כפרך מצרים כוש וסבא תחתיך׃
4 Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa, era kubanga nkwagala, ndiwaayo abasajja ku lulwo mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
מאשר יקרת בעיני נכבדת ואני אהבתיך ואתן אדם תחתיך ולאמים תחת נפשך׃
5 Totya, kubanga nze ndi nawe, ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
אל תירא כי אתך אני ממזרח אביא זרעך וממערב אקבצך׃
6 Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’ n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’ Leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
אמר לצפון תני ולתימן אל תכלאי הביאי בני מרחוק ובנותי מקצה הארץ׃
7 Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olw’ekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”
כל הנקרא בשמי ולכבודי בראתיו יצרתיו אף עשיתיו׃
8 Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.
הוציא עם עור ועינים יש וחרשים ואזנים למו׃
9 Amawanga gonna ka gakuŋŋaane n’abantu bajje. Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino? Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo? Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
כל הגוים נקבצו יחדו ויאספו לאמים מי בהם יגיד זאת וראשנות ישמיענו יתנו עדיהם ויצדקו וישמעו ויאמרו אמת׃
10 “Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira.
אתם עדי נאם יהוה ועבדי אשר בחרתי למען תדעו ותאמינו לי ותבינו כי אני הוא לפני לא נוצר אל ואחרי לא יהיה׃
11 Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.
אנכי אנכי יהוה ואין מבלעדי מושיע׃
12 Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
אנכי הגדתי והושעתי והשמעתי ואין בכם זר ואתם עדי נאם יהוה ואני אל׃
13 “Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo; tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
גם מיום אני הוא ואין מידי מציל אפעל ומי ישיבנה׃
14 Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Ku lwammwe nditumya e Babulooni, ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe mu byombo ebyabeewanya.
כה אמר יהוה גאלכם קדוש ישראל למענכם שלחתי בבלה והורדתי בריחים כלם וכשדים באניות רנתם׃
15 Nze Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
אני יהוה קדושכם בורא ישראל מלככם׃
16 Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ekkubo mu nnyanja, n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
כה אמר יהוה הנותן בים דרך ובמים עזים נתיבה׃
17 eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba, byonna awamu okugwa omwo, ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde, nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
המוציא רכב וסוס חיל ועזוז יחדו ישכבו בל יקומו דעכו כפשתה כבו׃
18 “Mwerabire eby’emabega, so temulowooza ku by’ayita.
אל תזכרו ראשנות וקדמניות אל תתבננו׃
19 Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu ne ndeeta emigga mu lukoola.
הנני עשה חדשה עתה תצמח הלוא תדעוה אף אשים במדבר דרך בישמון נהרות׃
20 Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa, ebibe n’ebiwuugulu; kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu, n’emigga mu lukoola, okunywesa abantu bange, abalonde bange,
תכבדני חית השדה תנים ובנות יענה כי נתתי במדבר מים נהרות בישימן להשקות עמי בחירי׃
21 abantu be nnekolera balangirire ettendo lyange.
עם זו יצרתי לי תהלתי יספרו׃
22 “So tonkowodde ggwe, Yakobo, era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
ולא אתי קראת יעקב כי יגעת בי ישראל׃
23 Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke wadde okukukooya n’obubaane.
לא הביאת לי שה עלתיך וזבחיך לא כבדתני לא העבדתיך במנחה ולא הוגעתיך בלבונה׃
24 Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo, naye onkoyesezza n’ebibi byo, era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
לא קנית לי בכסף קנה וחלב זבחיך לא הרויתני אך העבדתני בחטאותיך הוגעתני בעונתיך׃
25 “Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo.
אנכי אנכי הוא מחה פשעיך למעני וחטאתיך לא אזכר׃
26 Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi, jjangu ensonga tuzoogereko fembi, yogera ebiraga nga toliiko musango.
הזכירני נשפטה יחד ספר אתה למען תצדק׃
27 Kitaawo eyasooka yasobya, abakulembeze bo baanjemera.
אביך הראשון חטא ומליציך פשעו בי׃
28 Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo, era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe ne Isirayiri aswazibwe.”
ואחלל שרי קדש ואתנה לחרם יעקב וישראל לגדופים׃

< Isaaya 43 >