< Isaaya 41 >
1 “Musirike mumpulirize mmwe ebizinga, amawanga gaddemu amaanyi. Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero. Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
Taceant ad me insulæ, et gentes mutent fortitudinem: accedant, et tunc loquantur; simul ad judicium propinquemus.
2 “Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba, eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu? Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga, n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye, obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro ebitwalibwa empewo?
Quis suscitavit ab oriente Justum, vocavit eum ut sequeretur se? Dabit in conspectu ejus gentes, et reges obtinebit: dabit quasi pulverem gladio ejus, sicut stipulam vento raptam arcui ejus.
3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
Persequetur eos, transibit in pace: semita in pedibus ejus non apparebit.
4 Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow’olubereberye era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
Quis hæc operatus est, et fecit, vocans generationes ab exordio? Ego Dominus: primus et novissimus ego sum.
5 Ebizinga by’alaba ne bitya; n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
Viderunt insulæ, et timuerunt; extrema terræ obstupuerunt: appropinquaverunt, et accesserunt.
6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti; “Guma omwoyo!”
Unusquisque proximo suo auxiliabitur, et fratri suo dicet: Confortare.
7 Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo, n’oyo ayooyoota n’akayondo n’agumya oyo akuba ku luyijja ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
Confortavit faber ærarius percutiens malleo eum, qui cudebat tunc temporis, dicens: Glutino bonum est; et confortavit eum clavis, ut non moveretur.
8 “Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange, Yakobo gwe nalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
Et tu, Israël, serve meus, Jacob quem elegi, semen Abraham amici mei:
9 ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala, ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’ nze nakulonda so sikusuulanga:
in quo apprehendi te ab extremis terræ, et a longinquis ejus vocavi te, et dixi tibi: Servus meus es tu: elegi te, et non abjeci te.
10 Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Ne timeas, quia ego tecum sum; ne declines, quia ego Deus tuus: confortavi te, et auxiliatus sum tibi, et suscepit te dextera Justi mei.
11 “Laba, abo bonna abakukambuwalidde balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa ne baggwaawo.
Ecce confundentur et erubescent omnes qui pugnant adversum te; erunt quasi non sint, et peribunt viri qui contradicunt tibi.
12 Olibanoonya abo abaakukijjanyanga naye n’otobalaba. Abo abaakulwanyisanga baliggwaamu ensa.
Quæres eos, et non invenies, viros rebelles tuos; erunt quasi non sint, et veluti consumptio homines bellantes adversum te.
13 Kubanga nze Mukama Katonda wo akukwata ku mukono ogwa ddyo, nze nkugamba nti, Totya nze nzija kukuyamba.
Quia ego Dominus Deus tuus, apprehendens manum tuam, dicensque tibi: Ne timeas: ego adjuvi te.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi totya, ggwe Isirayiri, kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri.
Noli timere, vermis Jacob, qui mortui estis ex Israël: ego auxiliatus sum tibi, dicit Dominus, et redemptor tuus Sanctus Israël.
15 “Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo, ekyogi eky’amannyo amangi. Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala, obusozi ne mubufuula ebisusunku.
Ego posui te quasi plaustrum triturans novum, habens rostra serrantia; triturabis montes, et comminues, et colles quasi pulverem pones.
16 Oliziwewa empewo n’ezifuumula, embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye. Era naawe olisanyukira mu Mukama, era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Ventilabis eos, et ventus tollet, et turbo disperget eos; et tu exsultabis in Domino, in Sancto Israël lætaberis.
17 “Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
Egeni et pauperes quærunt aquas, et non sunt; lingua eorum siti aruit. Ego Dominus exaudiam eos, Deus Israël, non derelinquam eos.
18 Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu, era n’ensulo wakati mu biwonvu. Olukoola ndirufuula ennyanja, n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
Aperiam in supinis collibus flumina, et in medio camporum fontes: ponam desertum in stagna aquarum, et terram inviam in rivos aquarum.
19 Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya, omumwanyi n’omuzeyituuni, ate nsimbe mu ddungu enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
Dabo in solitudinem cedrum, et spinam, et myrtum, et lignum olivæ; ponam in deserto abietem, ulmum, et buxum simul:
20 Abantu balyoke balabe bamanye, balowooze era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
ut videant, et sciant, et recogitent, et intelligant pariter, quia manus Domini fecit hoc, et Sanctus Israël creavit illud.
21 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti, “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
Prope facite judicium vestrum, dicit Dominus; Afferte, si quid forte habetis, dicit rex Jacob.
22 “Baleete bakatonda bwabwe batubuulire ebigenda okubaawo. Batubuulire n’ebyaliwo emabega, tusobole okubimanya, n’okubirowoozaako n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
Accedant, et nuntient nobis quæcumque ventura sunt; priora quæ fuerunt, nuntiate, et ponemus cor nostrum, et sciemus novissima eorum; et quæ ventura sunt, indicate nobis.
23 Mutubuulire ebigenda okubaawo tulyoke tumanye nga muli bakatonda. Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
Annuntiate quæ ventura sunt in futurum, et sciemus quia dii estis vos; bene quoque aut male, si potestis, facite, et loquamur et videamus simul.
24 Laba, temuliiko bwe muli ne bye mukola tebigasa. Abo ababasinza bennyamiza.
Ecce vos estis ex nihilo, et opus vestrum ex eo quod non est: abominatio est qui elegit vos.
25 Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange, abeera mu buvanjuba. Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka, abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
Suscitavi ab aquilone, et veniet ab ortu solis: vocabit nomen meum, et adducet magistratus quasi lutum, et velut plastes conculcans humum.
26 Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ Tewali n’omu yakyogerako, tewali n’omu yakimanya era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
Quis annuntiavit ab exordio ut sciamus, et a principio ut dicamus: Justus es? Non est neque annuntians, neque prædicens, neque audiens sermones vestros.
27 Nasooka okubuulira Sayuuni era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
Primus ad Sion dicet: Ecce adsunt, et Jerusalem evangelistam dabo.
28 Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino. Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya, tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
Et vidi, et non erat neque ex istis quisquam qui iniret consilium, et interrogatus responderet verbum.
29 Laba, bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Ecce omnes injusti, et vana opera eorum; ventus et inane simulacra eorum.