< Isaaya 40 >
1 Mugumye, mugumye abantu bange, bw’ayogera Katonda wammwe.
2 Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, entalo ze ziweddewo, n’obutali butuukirivu bwe busasuliddwa. Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw’ebibi bye byonna.
3 Eddoboozi ly’oyo ayogera liwulikika ng’agamba nti, “Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu, mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa. N’obukyamu buligololwa, ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, “Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.” Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, “Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako. Mazima abantu muddo.
8 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo. Laba empeera ye eri mu mukono gwe, buli muntu afune nga bw’akoze.
11 Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe n’abasitula mu kifuba kye, n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye, n’apima eggulu n’oluta, n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo, oba n’apima ensozi ku minzaani, n’obusozi ku kipima?
13 Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama? Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu? Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga, n’okumanya n’okutegeera?
15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era ng’enfuufu ekutte ku minzaani, apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe, n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 Amawanga gonna ag’omu nsi gabalibwa mu maaso ge, gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 Kale ani gwe mulifaananya Katonda? Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu, n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda ne yenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 Temunnamanya, temunnawulira, temubuulirwanga okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gy’ali abantu bali ng’amayanzi. Atimba eggulu ng’olutimbe era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 Afuula abafuzi obutaba kintu, afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa, biba byakasigibwa, biba byakaleeta emirandira, nga abifuuwa nga biwotoka, ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 “Kale mulinfaananya ani, ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo. Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.
27 Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi w’enkomerero y’ensi. Tazirika so takoowa era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 Awa amaanyi abazirika, n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 Abavubuka bazirika, bakoowa, n’abalenzi bagwira ddala.
31 Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.