< Isaaya 38 >
1 Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama
3 ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
4 Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya,
5 nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano.
6 Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
7 “‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde.
8 Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
9 Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;
10 nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe, nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.” (Sheol )
11 Ne ndyoka njogera nti, “Sigenda kuddayo kulaba Mukama, mu nsi y’abalamu. Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
12 Obulamu bwange buzingiddwako ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako. Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira, bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange obumalirawo ddala.
13 Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba, ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
14 Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi, n’empuubaala ng’enjiibwa, amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu. Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”
15 Naye ate nga naagamba ki? Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze. N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno obw’obulamu bwange.
16 Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu, era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu. Omponye, mbeere mulamu.
17 Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira. Kubanga otadde ebibi byange byonna emabega wo.
18 Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza, abafu tebayinza kukusuuta; tebaba na ssuubi mu bwesigwa bwo. (Sheol )
19 Akyali omulamu, y’akutendereza nga nze bwe nkola leero; bakitaabwe b’abaana babategeeza nga bw’oli omwesigwa ennyo.
20 Mukama alindokola, kyetunaavanga tuyimba ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe, mu nnyumba ya Mukama.
21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”
22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”