< Isaaya 35 >

1 Eddungu n’ensi enkalu birijaguza; Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti
יששום מדבר וציה ותגל ערבה ותפרח כחבצלת׃
2 birimeruka, birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, ekitiibwa kya Katonda waffe.
פרח תפרח ותגל אף גילת ורנן כבוד הלבנון נתן לה הדר הכרמל והשרון המה יראו כבוד יהוה הדר אלהינו׃
3 Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
חזקו ידים רפות וברכים כשלות אמצו׃
4 Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere n’amaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, era alibalokola.
אמרו לנמהרי לב חזקו אל תיראו הנה אלהיכם נקם יבוא גמול אלהים הוא יבוא וישעכם׃
5 Olwo amaaso g’abazibe galiraba, era n’amatu ga bakiggala galigguka;
אז תפקחנה עיני עורים ואזני חרשים תפתחנה׃
6 omulema alibuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
אז ידלג כאיל פסח ותרן לשון אלם כי נבקעו במדבר מים ונחלים בערבה׃
7 N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, n’essaalu, n’ebitoogo.
והיה השרב לאגם וצמאון למבועי מים בנוה תנים רבצה חציר לקנה וגמא׃
8 Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba ly’abali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
והיה שם מסלול ודרך ודרך הקדש יקרא לה לא יעברנו טמא והוא למו הלך דרך ואוילים לא יתעו׃
9 Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo.
לא יהיה שם אריה ופריץ חיות בל יעלנה לא תמצא שם והלכו גאולים׃
10 N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
ופדויי יהוה ישבון ובאו ציון ברנה ושמחת עולם על ראשם ששון ושמחה ישיגו ונסו יגון ואנחה׃

< Isaaya 35 >