< Isaaya 34 >

1 Musembere mmwe amawanga muwulirize. Musseeyo omwoyo mmwe abantu. Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu, ensi ne byonna ebigivaamu.
קִרְבוּ גוֹיִם לִשְׁמֹעַ וּלְאֻמִּים הַקְשִׁיבוּ תִּשְׁמַע הָאָרֶץ וּמְלֹאָהּ תֵּבֵל וְכָל־צֶאֱצָאֶֽיהָ׃
2 Mukama anyiigidde amawanga gonna, ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna. Alibazikiririza ddala, alibawaayo okuttibwa.
כִּי קֶצֶף לַֽיהוָה עַל־כָּל־הַגּוֹיִם וְחֵמָה עַל־כָּל־צְבָאָם הֶחֱרִימָם נְתָנָם לַטָּֽבַח׃
3 Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n’emirambo gyabwe giriwunya, n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
וְחַלְלֵיהֶם יֻשְׁלָכוּ וּפִגְרֵיהֶם יַעֲלֶה בָאְשָׁם וְנָמַסּוּ הָרִים מִדָּמָֽם׃
4 Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka, n’eggulu liryezingako ng’omuzingo; n’eggye ery’omu ggulu lirigwa, ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu, ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
וְנָמַקּוּ כָּל־צְבָא הַשָּׁמַיִם וְנָגֹלּוּ כַסֵּפֶר הַשָּׁמָיִם וְכָל־צְבָאָם יִבּוֹל כִּנְבֹל עָלֶה מִגֶּפֶן וּכְנֹבֶלֶת מִתְּאֵנָֽה׃
5 Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu, era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango, abantu be mmaliddewo ddala.
כִּֽי־רִוְּתָה בַשָּׁמַיִם חַרְבִּי הִנֵּה עַל־אֱדוֹם תֵּרֵד וְעַל־עַם חֶרְמִי לְמִשְׁפָּֽט׃
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi, kiriko amasavu, omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi, amasavu agava mu nsingo za sseddume. Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula, era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
חֶרֶב לַיהוָה מָלְאָה דָם הֻדַּשְׁנָה מֵחֵלֶב מִדַּם כָּרִים וְעַתּוּדִים מֵחֵלֶב כִּלְיוֹת אֵילִים כִּי זֶבַח לַֽיהוָה בְּבָצְרָה וְטֶבַח גָּדוֹל בְּאֶרֶץ אֱדֽוֹם׃
7 Embogo zirifiira wamu nazo, n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo. Ensi yaabwe erijjula omusaayi, n’enfuufu erinnyikira amasavu.
וְיָרְדוּ רְאֵמִים עִמָּם וּפָרִים עִם־אַבִּירִים וְרִוְּתָה אַרְצָם מִדָּם וַעֲפָרָם מֵחֵלֶב יְדֻשָּֽׁן׃
8 Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
כִּי יוֹם נָקָם לַֽיהוָה שְׁנַת שִׁלּוּמִים לְרִיב צִיּֽוֹן׃
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo, n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya. Ensi ye erifuuka ng’obulimbo obuggya omuliro.
וְנֶהֶפְכוּ נְחָלֶיהָ לְזֶפֶת וַעֲפָרָהּ לְגָפְרִית וְהָיְתָה אַרְצָהּ לְזֶפֶת בֹּעֵרָֽה׃
10 Talizikizibwa emisana n’ekiro, n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna. Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe, era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
לַיְלָה וְיוֹמָם לֹא תִכְבֶּה לְעוֹלָם יַעֲלֶה עֲשָׁנָהּ מִדּוֹר לָדוֹר תֶּחֱרָב לְנֵצַח נְצָחִים אֵין עֹבֵר בָּֽהּ׃
11 Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu. Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo. Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika, n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
וִירֵשׁוּהָ קָאַת וְקִפּוֹד וְיַנְשׁוֹף וְעֹרֵב יִשְׁכְּנוּ־בָהּ וְנָטָה עָלֶיהָ קַֽו־תֹהוּ וְאַבְנֵי־בֹֽהוּ׃
12 Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka, n’abalangira be bonna baliggwaawo.
חֹרֶיהָ וְאֵֽין־שָׁם מְלוּכָה יִקְרָאוּ וְכָל־שָׂרֶיהָ יִהְיוּ אָֽפֶס׃
13 Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye, n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa. Aliyiggibwa ebibe, era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
וְעָלְתָה אַרְמְנֹתֶיהָ סִירִים קִמּוֹשׂ וָחוֹחַ בְּמִבְצָרֶיהָ וְהָיְתָה נְוֵה תַנִּים חָצִיר לִבְנוֹת יַעֲנָֽה׃
14 Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi, n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza. Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
וּפָגְשׁוּ צִיִּים אֶת־אִיִּים וְשָׂעִיר עַל־רֵעֵהוּ יִקְרָא אַךְ־שָׁם הִרְגִּיעָה לִּילִית וּמָצְאָה לָהּ מָנֽוֹחַ׃
15 Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi, ne kigaalula, ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo. Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
שָׁמָּה קִנְּנָה קִפּוֹז וַתְּמַלֵּט וּבָקְעָה וְדָגְרָה בְצִלָּהּ אַךְ־שָׁם נִקְבְּצוּ דַיּוֹת אִשָּׁה רְעוּתָֽהּ׃
16 Tunula mu muzingo gwa Mukama osome. Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo, era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume. Akamwa ka Mukama ke kalagidde, era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
דִּרְשׁוּ מֵֽעַל־סֵפֶר יְהוָה וּֽקְרָאוּ אַחַת מֵהֵנָּה לֹא נֶעְדָּרָה אִשָּׁה רְעוּתָהּ לֹא פָקָדוּ כִּֽי־פִי הוּא צִוָּה וְרוּחוֹ הוּא קִבְּצָֽן׃
17 Agabira buli kimu omugabo gwakyo, era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera. Birikibeeramu ennaku zonna, bibeere omwo emirembe n’emirembe.
וְהֽוּא־הִפִּיל לָהֶן גּוֹרָל וְיָדוֹ חִלְּקַתָּה לָהֶם בַּקָּו עַד־עוֹלָם יִֽירָשׁוּהָ לְדוֹר וָדוֹר יִשְׁכְּנוּ־בָֽהּ׃

< Isaaya 34 >