< Isaaya 33 >

1 Zikusanze ggwe omuzikiriza ggwe atazikirizibwanga. Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala, ggwe, gwe batalyangamu lukwe, bw’olirekaraawo okuzikiriza, olizikirizibwa. Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe, balikulyamu olukwe.
הוי שודד ואתה לא שדוד ובוגד ולא בגדו בו כהתמך שודד תושד כנלתך לבגד יבגדו בך
2 Ayi Mukama tusaasire, tukuyaayaanira. Obeere amaanyi gaffe buli makya, obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
יהוה חננו לך קוינו היה זרעם לבקרים אף ישועתנו בעת צרה
3 Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka, bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
מקול המון נדדו עמים מרוממתך נפצו גוים
4 Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento, era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
ואסף שללכם אסף החסיל--כמשק גבים שקק בו
5 Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu, alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
נשגב יהוה כי שכן מרום מלא ציון משפט וצדקה
6 Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo, nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya. Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
והיה אמונת עתיך חסן ישועת חכמת ודעת יראת יהוה היא אוצרו
7 Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
הן אראלם צעקו חצה מלאכי שלום מר יבכיון
8 Enguudo ennene tezitambulirwako, tewali azitambulirako. Endagaano yamenyebwa, n’abajulizi baayo banyoomebwa, tewali assibwamu kitiibwa.
נשמו מסלות שבת עבר ארח הפר ברית מאס ערים לא חשב אנוש
9 Ensi ekungubaga era eyongobera, Lebanooni aswadde era awotose; Saloni ali ng’eddungu, ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
אבל אמללה ארץ החפיר לבנון קמל היה השרון כערבה ונער בשן וכרמל
10 Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka, kaakano nnaagulumizibwa, kaakano nnaayimusibwa waggulu.
עתה אקום יאמר יהוה עתה ארומם--עתה אנשא
11 Ofuna olubuto olw’ebisusunku, ozaala ssubi, omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.
תהרו חשש תלדו קש רוחכם אש תאכלכם
12 Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa, balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
והיו עמים משרפות שיד קוצים כסוחים באש יצתו
13 Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze. Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.
שמעו רחוקים אשר עשיתי ודעו קרובים גברתי
14 Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde, okutya kujjidde abatalina Katonda. “Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo? Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”
פחדו בציון חטאים אחזה רעדה חנפים מי יגור לנו אש אוכלה--מי יגור לנו מוקדי עולם
15 Atambulira mu butuukirivu, n’ayogera ebituufu, oyo atatwala magoba agava mu bubbi, n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi, aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta, n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
הלך צדקות ודבר מישרים מאס בבצע מעשקות נער כפיו מתמך בשחד אטם אזנו משמע דמים ועצם עיניו מראות ברע
16 ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu, n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi. Aliweebwa emmere, n’amazzi tegalimuggwaako.
הוא מרומים ישכן מצדות סלעים משגבו לחמו נתן מימיו נאמנים
17 Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe, ne galaba ensi eyeewala.
מלך ביפיו תחזינה עיניך תראינה ארץ מרחקים
18 Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti, “Omukungu omukulu ali ludda wa? Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo? Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
לבך יהגה אימה איה ספר איה שקל איה ספר את המגדלים
19 Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala, abantu ab’olulimi olutamanyiddwa, olulimi olutategeerekeka.
את עם נועז לא תראה עם עמקי שפה משמוע נלעג לשון אין בינה
20 Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe, amaaso go galiraba Yerusaalemi, ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa enkondo zaayo tezirisimbulwa, newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
חזה ציון קרית מועדנו עיניך תראינה ירושלם נוה שאנן אהל בל יצען בל יסע יתדתיו לנצח וכל חבליו בל ינתקו
21 Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi. Temuliyitamu lyato newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
כי אם שם אדיר יהוה לנו מקום נהרים יארים רחבי ידים בל תלך בו אני שיט וצי אדיר לא יעברנו
22 Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama y’atuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, y’alitulokola.
כי יהוה שפטנו יהוה מחקקנו יהוה מלכנו הוא יושיענו
23 Emiguwa gyo gisumulukuse n’omulongooti si munywevu, n’ettanga si lyanjuluze. Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu, n’abalala balitwala eby’omunyago.
נטשו חבליך בל יחזקו כן תרנם בל פרשו נס אז חלק עד שלל מרבה פסחים בזזו בז
24 Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,” n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.
ובל יאמר שכן חליתי העם הישב בה נשא עון

< Isaaya 33 >