< Isaaya 32 >

1 Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu, n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
הֵ֥ן לְצֶ֖דֶק יִמְלָךְ־מֶ֑לֶךְ וּלְשָׂרִ֖ים לְמִשְׁפָּ֥ט יָשֹֽׂרוּ׃
2 Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo, ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga, ng’emigga gy’amazzi mu ddungu, ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.
וְהָיָה־אִ֥ישׁ כְּמַֽחֲבֵא־ר֖וּחַ וְסֵ֣תֶר זָ֑רֶם כְּפַלְגֵי־מַ֣יִם בְּצָיֹ֔ון כְּצֵ֥ל סֶֽלַע־כָּבֵ֖ד בְּאֶ֥רֶץ עֲיֵפָֽה׃
3 Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba, n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
וְלֹ֥א תִשְׁעֶ֖ינָה עֵינֵ֣י רֹאִ֑ים וְאָזְנֵ֥י שֹׁמְעִ֖ים תִּקְשַֽׁבְנָה׃
4 Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera, n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
וּלְבַ֥ב נִמְהָרִ֖ים יָבִ֣ין לָדָ֑עַת וּלְשֹׁ֣ון עִלְּגִ֔ים תְּמַהֵ֖ר לְדַבֵּ֥ר צָחֹֽות׃
5 Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa, newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
לֹֽא־יִקָּרֵ֥א עֹ֛וד לְנָבָ֖ל נָדִ֑יב וּלְכִילַ֕י לֹ֥א יֵֽאָמֵ֖ר שֹֽׁועַ׃
6 Omusirusiru ayogera bya busirusiru, n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu. Akola eby’obutatya Katonda, era ayogera bya bulimba ku Mukama, n’abayala abaleka tebalina kintu, n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
כִּ֤י נָבָל֙ נְבָלָ֣ה יְדַבֵּ֔ר וְלִבֹּ֖ו יַעֲשֶׂה־אָ֑וֶן לַעֲשֹׂ֣ות חֹ֗נֶף וּלְדַבֵּ֤ר אֶל־יְהוָה֙ תֹּועָ֔ה לְהָרִיק֙ נֶ֣פֶשׁ רָעֵ֔ב וּמַשְׁקֶ֥ה צָמֵ֖א יַחְסִֽיר׃
7 Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
וְכֵלַ֖י כֵּלָ֣יו רָעִ֑ים ה֚וּא זִמֹּ֣ות יָעָ֔ץ לְחַבֵּ֤ל עֲנָוִים (עֲנִיִּים֙) בְּאִמְרֵי־שֶׁ֔קֶר וּבְדַבֵּ֥ר אֶבְיֹ֖ון מִשְׁפָּֽט׃
8 Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa, era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
וְנָדִ֖יב נְדִיבֹ֣ות יָעָ֑ץ וְה֖וּא עַל־נְדִיבֹ֥ות יָקֽוּם׃ פ
9 Mmwe abakazi abateefiirayo, mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange; mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu, muwulire bye ŋŋamba.
נָשִׁים֙ שַֽׁאֲנַנֹּ֔ות קֹ֖מְנָה שְׁמַ֣עְנָה קֹולִ֑י בָּנֹות֙ בֹּֽטחֹ֔ות הַאְזֵ֖נָּה אִמְרָתִֽי׃
10 Mu mwaka gumu oba n’okusingawo, mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya, amakungula g’emizabbibu galifa, n’amakungula g’ebibala tegalijja.
יָמִים֙ עַל־שָׁנָ֔ה תִּרְגַּ֖זְנָה בֹּֽטְחֹ֑ות כִּ֚י כָּלָ֣ה בָצִ֔יר אֹ֖סֶף בְּלִ֥י יָבֹֽוא׃
11 Mutye mmwe abakazi abateefiirayo, mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu. Muggyeko engoye zammwe, mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
חִרְדוּ֙ שַֽׁאֲנַנֹּ֔ות רְגָ֖זָה בֹּֽטְחֹ֑ות פְּשֹׁ֣טָֽה וְעֹ֔רָה וַחֲגֹ֖ורָה עַל־חֲלָצָֽיִם׃
12 Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa, olw’emizabbibu egyabalanga,
עַל־שָׁדַ֖יִם סֹֽפְדִ֑ים עַל־שְׂדֵי־חֶ֕מֶד עַל־גֶּ֖פֶן פֹּרִיָּֽה׃
13 n’olw’ensi ey’abantu bange, ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti. Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu, na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
עַ֚ל אַדְמַ֣ת עַמִּ֔י קֹ֥וץ שָׁמִ֖יר תַּֽעֲלֶ֑ה כִּ֚י עַל־כָּל־בָּתֵּ֣י מָשֹׂ֔ושׂ קִרְיָ֖ה עַלִּיזָֽה׃
14 Weewaawo ekigo kirirekebwawo, ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa. Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna, ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
כִּֽי־אַרְמֹ֣ון נֻטָּ֔שׁ הֲמֹ֥ון עִ֖יר עֻזָּ֑ב עֹ֣פֶל וָבַ֜חַן הָיָ֨ה בְעַ֤ד מְעָרֹות֙ עַד־עֹולָ֔ם מְשֹׂ֥ושׂ פְּרָאִ֖ים מִרְעֵ֥ה עֲדָרִֽים׃
15 okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu, n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu, n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
עַד־יֵ֨עָרֶ֥ה עָלֵ֛ינוּ ר֖וּחַ מִמָּרֹ֑ום וְהָיָ֤ה מִדְבָּר֙ לַכַּרְמֶ֔ל וְכַרְמֶל (וְהַכַּרְמֶ֖ל) לַיַּ֥עַר יֵחָשֵֽׁב׃
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu, n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
וְשָׁכַ֥ן בַּמִּדְבָּ֖ר מִשְׁפָּ֑ט וּצְדָקָ֖ה בַּכַּרְמֶ֥ל תֵּשֵֽׁב׃
17 Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe, n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
וְהָיָ֛ה מַעֲשֵׂ֥ה הַצְּדָקָ֖ה שָׁלֹ֑ום וַֽעֲבֹדַת֙ הַצְּדָקָ֔ה הַשְׁקֵ֥ט וָבֶ֖טַח עַד־עֹולָֽם׃
18 Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe, mu maka amateefu mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
וְיָשַׁ֥ב עַמִּ֖י בִּנְוֵ֣ה שָׁלֹ֑ום וּֽבְמִשְׁכְּנֹות֙ מִבְטַחִ֔ים וּבִמְנוּחֹ֖ת שַׁאֲנַנֹּֽות׃
19 Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo, n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
וּבָרַ֖ד בְּרֶ֣דֶת הַיָּ֑עַר וּבַשִּׁפְלָ֖ה תִּשְׁפַּ֥ל הָעִֽיר׃
20 ggwe oliraba omukisa, ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna, n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.
אַשְׁרֵיכֶ֕ם זֹרְעֵ֖י עַל־כָּל־מָ֑יִם מְשַׁלְּחֵ֥י רֶֽגֶל־הַשֹּׁ֖ור וְהַחֲמֹֽור׃ ס

< Isaaya 32 >