< Isaaya 31 >
1 Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali gaabwe amangi, abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2 Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi; tajjulula bigambo bye. Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu, ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3 Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri. Katonda bw’agolola omukono gwe oyo ayamba, alyesittala, n’oyo ayambibwa aligwa era bombi balizikiririra wamu.
4 Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti, “Ng’empologoma bwe wuluguma, empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba kiyitibwa awamu okugirumba, tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe, newaakubadde oluyoogaano lwabwe. Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta, okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5 Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu, bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi; alikikuuma, n’akiwonya, alikiyitamu n’akirokola.”
6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.
7 Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 “Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu; ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo. Alidduka ekitala, n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9 Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya, n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,” bw’ayogera Mukama nannyini muliro oguli mu Sayuuni, era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.