< Isaaya 30 >

1 “Zibasanze abaana abajeemu, Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza ne batta omukago awatali Mwoyo wange ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
הוי בנים סוררים נאם יהוה לעשות עצה ולא מני ולנסך מסכה ולא רוחי--למען ספות חטאת על חטאת
2 “Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako, ne banoonya obuyambi ewa Falaawo, n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri okuba obuddukiro.
ההלכים לרדת מצרים ופי לא שאלו לעוז במעוז פרעה ולחסות בצל מצרים
3 Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa, n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
והיה לכם מעוז פרעה לבשת והחסות בצל מצרים לכלמה
4 Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
כי היו בצען שריו ומלאכיו חנס יגיעו
5 buli muntu aliswazibwa olw’eggwanga eritabagasa, abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso, okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
כל הבאיש על עם לא יועילו למו לא לעזר ולא להועיל כי לבשת וגם לחרפה
6 Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno: Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku ne batawaanyizibwa mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi, erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi, n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
משא בהמות נגב בארץ צרה וצוקה לביא וליש מהם אפעה ושרף מעופף ישאו על כתף עירים חילהם ועל דבשת גמלים אוצרתם על עם לא יועילו
7 Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono. Kyenva muyita Lakabu ataliiko kyayinza kukola.
ומצרים הבל וריק יעזרו לכן קראתי לזאת רהב הם שבת
8 Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande, okiwandiike ku mizingo, kibabeererenga obujulizi obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
עתה בוא כתבה על לוח אתם--ועל ספר חקה ותהי ליום אחרון לעד עד עולם
9 Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
כי עם מרי הוא בנים כחשים בנים לא אבו שמוע תורת יהוה
10 Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” N’eri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya.
אשר אמרו לראים לא תראו ולחזים לא תחזו לנו נכחות דברו לנו חלקות חזו מהתלות
11 Muve mu kkubo lino, mukyame muve ku luguudo luno, mulekeraawo okututegeeza ku Mutukuvu wa Isirayiri.”
סורו מני דרך הטו מני ארח השביתו מפנינו את קדוש ישראל
12 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Olw’okugaana obubaka buno, ne mwesiga okunyigirizibwa, ne mwesiga omulimba,
לכן כה אמר קדוש ישראל יען מאסכם בדבר הזה ותבטחו בעשק ונלוז ותשענו עליו
13 ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, alimu enjatika era azimbye, okutemya n’okuzibula ng’agudde.
לכן יהיה לכם העון הזה כפרץ נפל נבעה בחומה נשגבה--אשר פתאם לפתע יבוא שברה
14 Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba, n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira, era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto, oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
ושברה כשבר נבל יוצרים כתות--לא יחמל ולא ימצא במכתתו חרש לחתות אש מיקוד ולחשף מים מגבא
15 Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe, mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe, naye temufuddeeyo.
כי כה אמר אדני יהוה קדוש ישראל בשובה ונחת תושעון--בהשקט ובבטחה תהיה גבורתכם ולא אביתם
16 Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’ Kyoliva odduka. Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’ Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
ותאמרו לא כי על סוס ננוס על כן תנוסון ועל קל נרכב על כן יקלו רדפיכם
17 Abantu olukumi balidduka olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu; Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano, olidduka, Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi, ng’ebendera eri ku kasozi.”
אלף אחד מפני גערת אחד--מפני גערת חמשה תנסו עד אם נותרתם כתרן על ראש ההר וכנס על הגבעה
18 Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.
ולכן יחכה יהוה לחננכם ולכן ירום לרחמכם כי אלהי משפט יהוה אשרי כל חוכי לו
19 Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.
כי עם בציון ישב בירושלם בכו לא תבכה חנון יחנך לקול זעקך--כשמעתו ענך
20 Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go.
ונתן לכם אדני לחם צר ומים לחץ ולא יכנף עוד מוריך והיו עיניך ראות את מוריך
21 Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”
ואזניך תשמענה דבר מאחריך לאמר זה הדרך לכו בו כי תאמינו וכי תשמאילו
22 Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
וטמאתם את צפוי פסילי כספך ואת אפדת מסכת זהבך תזרם כמו דוה צא תאמר לו
23 Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi.
ונתן מטר זרעך אשר תזרע את האדמה ולחם תבואת האדמה והיה דשן ושמן ירעה מקניך ביום ההוא כר נרחב
24 Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo.
והאלפים והעירים עבדי האדמה בליל חמיץ יאכלו--אשר זרה ברחת ובמזרה
25 Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.
והיה על כל הר גבה ועל כל גבעה נשאה פלגים יבלי מים--ביום הרג רב בנפל מגדלים
26 Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
והיה אור הלבנה כאור החמה ואור החמה יהיה שבעתים כאור שבעת הימים--ביום חבש יהוה את שבר עמו ומחץ מכתו ירפא
27 Laba, erinnya lya Mukama liva wala n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire; emimwa gye gijjudde ekiruyi, n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
הנה שם יהוה בא ממרחק בער אפו וכבד משאה שפתיו מלאו זעם ולשונו כאש אכלת
28 Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago. Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
ורוחו כנחל שוטף עד צואר יחצה להנפה גוים בנפת שוא ורסן מתעה על לחיי עמים
29 Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu; omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
השיר יהיה לכם כליל התקדש חג ושמחת לבב כהולך בחליל לבוא בהר יהוה אל צור ישראל
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa, alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
והשמיע יהוה את הוד קולו ונחת זרועו יראה בזעף אף ולהב אש אוכלה נפץ וזרם ואבן ברד
31 Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli, alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
כי מקול יהוה יחת אשור בשבט יכה
32 Buli muggo Mukama gw’anakukubanga n’oluga lwe olubonereza, guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli, ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
והיה כל מעבר מטה מוסדה אשר יניח יהוה עליו בתפים ובכנרות ובמלחמות תנופה נלחם בה (בם)
33 Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka; ky’ateekebwateekebwa kabaka. Ekinnya kyakyo eky’omuliro kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n’enku; omukka gwa Mukama gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.
כי ערוך מאתמול תפתה גם הוא (היא) למלך הוכן העמיק הרחב מדרתה אש ועצים הרבה--נשמת יהוה כנחל גפרית בערה בה

< Isaaya 30 >