< Isaaya 29 >

1 Zikusanze ggwe Alyeri, Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu, yongera omwaka ku mwaka, n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
הוֹי אֲרִיאֵל אֲרִיאֵל קִרְיַת חָנָה דָוִד סְפוּ שָׁנָה עַל־שָׁנָה חַגִּים יִנְקֹֽפוּ׃
2 Wabula ndizingiza Alyeri, alikuba ebiwoobe era alikungubaga, era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
וַהֲצִיקוֹתִי לַֽאֲרִיאֵל וְהָיְתָה תַֽאֲנִיָּה וַֽאֲנִיָּה וְהָיְתָה לִּי כַּאֲרִיאֵֽל׃
3 Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna, era ndikwetoolooza eminaala, ne nkusaako ebifunvu.
וְחָנִיתִי כַדּוּר עָלָיִךְ וְצַרְתִּי עָלַיִךְ מֻצָּב וַהֲקֽ͏ִימֹתִי עָלַיִךְ מְצֻרֹֽת׃
4 Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka, n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu. Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka, n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.
וְשָׁפַלְתְּ מֵאֶרֶץ תְּדַבֵּרִי וּמֵֽעָפָר תִּשַּׁח אִמְרָתֵךְ וְֽהָיָה כְּאוֹב מֵאֶרֶץ קוֹלֵךְ וּמֵעָפָר אִמְרָתֵךְ תְּצַפְצֵֽף׃
5 Naye abalabe bo abangi baliba ng’enfuufu eweweddwa, n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
וְהָיָה כְּאָבָק דַּק הֲמוֹן זָרָיִךְ וּכְמֹץ עֹבֵר הֲמוֹן עָֽרִיצִים וְהָיָה לְפֶתַע פִּתְאֹֽם׃
6 Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira mu kubwatuuka ne mu musisi, ne mu ddoboozi ery’omwanguka, ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
מֵעִם יְהוָה צְבָאוֹת תִּפָּקֵד בְּרַעַם וּבְרַעַשׁ וְקוֹל גָּדוֹל סוּפָה וּסְעָרָה וְלַהַב אֵשׁ אוֹכֵלָֽה׃
7 Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba, birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza; kiriba ng’ekirooto, ng’okwolesebwa mu kiro
וְהָיָה כַּֽחֲלוֹם חֲזוֹן לַיְלָה הֲמוֹן כָּל־הַגּוֹיִם הַצֹּבְאִים עַל־אֲרִיאֵל וְכָל־צֹבֶיהָ וּמְצֹדָתָהּ וְהַמְּצִיקִים לָֽהּ׃
8 ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala; oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta. Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna agalwana n’Olusozi Sayuuni.
וְהָיָה כַּאֲשֶׁר יַחֲלֹם הָרָעֵב וְהִנֵּה אוֹכֵל וְהֵקִיץ וְרֵיקָה נַפְשׁוֹ וְכַאֲשֶׁר יַחֲלֹם הַצָּמֵא וְהִנֵּה שֹׁתֶה וְהֵקִיץ וְהִנֵּה עָיֵף וְנַפְשׁוֹ שׁוֹקֵקָה כֵּן יִֽהְיֶה הֲמוֹן כָּל־הַגּוֹיִם הַצֹּבְאִים עַל־הַר צִיּֽוֹן׃
9 Muwuniikirire era mwewuunye Muzibirire era muzibe amaaso; Batamiire, naye si na nvinnyo, batagala, naye si lwa mwenge.
הִתְמַהְמְהוּ וּתְמָהוּ הִשְׁתּֽ͏ַעַשְׁעוּ וָשֹׁעוּ שָֽׁכְרוּ וְלֹא־יַיִן נָעוּ וְלֹא שֵׁכָֽר׃
10 Mukama akuwadde otulo tungi, azibye amaaso gammwe bannabbi, era abisse emitwe gyammwe abalabi.
כִּֽי־נָסַךְ עֲלֵיכֶם יְהוָה רוּחַ תַּרְדֵּמָה וַיְעַצֵּם אֶת־עֵֽינֵיכֶם אֶת־הַנְּבִיאִים וְאֶת־רָאשֵׁיכֶם הַחֹזִים כִּסָּֽה׃
11 Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.”
וַתְּהִי לָכֶם חָזוּת הַכֹּל כְּדִבְרֵי הַסֵּפֶר הֶֽחָתוּם אֲשֶֽׁר־יִתְּנוּ אֹתוֹ אֶל־יוֹדֵעַ הספר סֵפֶר לֵאמֹר קְרָא נָא־זֶה וְאָמַר לֹא אוּכַל כִּי חָתוּם הֽוּא׃
12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”
וְנִתַּן הַסֵּפֶר עַל אֲשֶׁר לֹֽא־יָדַע סֵפֶר לֵאמֹר קְרָא נָא־זֶה וְאָמַר לֹא יָדַעְתִּי סֵֽפֶר׃
13 Mukama agamba nti, “Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe, ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gindi wala. Okunsinza kwe bansinza, biragiro abantu bye baayigiriza.
וַיֹּאמֶר אֲדֹנָי יַעַן כִּי נִגַּשׁ הָעָם הַזֶּה בְּפִיו וּבִשְׂפָתָיו כִּבְּדוּנִי וְלִבּוֹ רִחַק מִמֶּנִּי וַתְּהִי יִרְאָתָם אֹתִי מִצְוַת אֲנָשִׁים מְלֻמָּדָֽה׃
14 Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano. Amagezi g’abagezi galizikirira, n’okutegeera kw’abategeevu kuliggwaawo.”
לָכֵן הִנְנִי יוֹסִף לְהַפְלִיא אֶת־הָֽעָם־הַזֶּה הַפְלֵא וָפֶלֶא וְאָֽבְדָה חָכְמַת חֲכָמָיו וּבִינַת נְבֹנָיו תִּסְתַּתָּֽר׃
15 Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola okukweka Mukama enteekateeka zaabwe, abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti, “Ani atulaba? Ani alimanya?”
הוֹי הַמַּעֲמִיקִים מֵֽיהוָה לַסְתִּר עֵצָה וְהָיָה בְמַחְשָׁךְ מַֽעֲשֵׂיהֶם וַיֹּאמְרוּ מִי רֹאֵנוּ וּמִי יוֹדְעֵֽנוּ׃
16 Mufuula ebintu ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina ky’amanyi”?
הַפְכְּכֶם אִם־כְּחֹמֶר הַיֹּצֵר יֵֽחָשֵׁב כִּֽי־יֹאמַר מַעֲשֶׂה לְעֹשֵׂהוּ לֹא עָשָׂנִי וְיֵצֶר אָמַר לְיוֹצְרוֹ לֹא הֵבִֽין׃
17 Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu, n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
הֲלוֹא־עוֹד מְעַט מִזְעָר וְשָׁב לְבָנוֹן לַכַּרְמֶל וְהַכַּרְמֶל לַיַּעַר יֵחָשֵֽׁב׃
18 Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo, n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
וְשָׁמְעוּ בַיּוֹם־הַהוּא הַחֵרְשִׁים דִּבְרֵי־סֵפֶר וּמֵאֹפֶל וּמֵחֹשֶׁךְ עֵינֵי עִוְרִים תִּרְאֶֽינָה׃
19 Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate, n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
וְיָסְפוּ עֲנָוִים בַּֽיהוָה שִׂמְחָה וְאֶבְיוֹנֵי אָדָם בִּקְדוֹשׁ יִשְׂרָאֵל יָגִֽילוּ׃
20 Weewaawo asinga obubi aliggwaawo, n’omunyoomi alibula, n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
כִּֽי־אָפֵס עָרִיץ וְכָלָה לֵץ וְנִכְרְתוּ כָּל־שֹׁקְדֵי אָֽוֶן׃
21 abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba, ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.
מַחֲטִיאֵי אָדָם בְּדָבָר וְלַמּוֹכִיחַ בַּשַּׁעַר יְקֹשׁוּן וַיַּטּוּ בַתֹּהוּ צַדִּֽיק׃
22 Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti, Yakobo taliddayo kuswazibwa, n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
לָכֵן כֹּֽה־אָמַר יְהוָה אֶל־בֵּית יַֽעֲקֹב אֲשֶׁר פָּדָה אֶת־אַבְרָהָם לֹֽא־עַתָּה יֵבוֹשׁ יַֽעֲקֹב וְלֹא עַתָּה פָּנָיו יֶחֱוָֽרוּ׃
23 Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe, balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu. Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo era baliyimirira ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
כִּי בִרְאֹתוֹ יְלָדָיו מַעֲשֵׂה יָדַי בְּקִרְבּוֹ יַקְדִּישֽׁוּ שְׁמִי וְהִקְדִּישׁוּ אֶת־קְדוֹשׁ יַֽעֲקֹב וְאֶת־אֱלֹהֵי יִשְׂרָאֵל יַעֲרִֽיצוּ׃
24 Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera, n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.
וְיָדְעוּ תֹֽעֵי־רוּחַ בִּינָה וְרוֹגְנִים יִלְמְדוּ־לֶֽקַח׃

< Isaaya 29 >