< Isaaya 27 >

1 Mu biro ebyo, Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye, ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene, alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula, Lukwata omusota ogwezinga, atte n’ogusota gw’ennyanja.
ביום ההוא יפקד יהוה בחרבו הקשה והגדולה והחזקה על לויתן נחש ברח ועל לויתן נחש עקלתון והרג את התנין אשר בים׃
2 Mu biro ebyo “Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.
ביום ההוא כרם חמד ענו לה׃
3 Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira era nze ngifukirira buli kiseera. Ngikuuma emisana n’ekiro Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
אני יהוה נצרה לרגעים אשקנה פן יפקד עליה לילה ויום אצרנה׃
4 Siri munyiivu. Singa katazamiti n’amaggwa binnumba, nandibitabadde mu lutalo? Byonna nandibyokezza omuliro.
חמה אין לי מי יתנני שמיר שית במלחמה אפשעה בה אציתנה יחד׃
5 Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane, weewaawo tutabagane.”
או יחזק במעוזי יעשה שלום לי שלום יעשה לי׃
6 Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira, Isirayiri aliroka n’amulisa n’ajjuza ensi yonna ebibala.
הבאים ישרש יעקב יציץ ופרח ישראל ומלאו פני תבל תנובה׃
7 Mukama amukubye omuggo ng’akuba abo abaamukuba? Attiddwa nga be yatta, bwe battibwa?
הכמכת מכהו הכהו אם כהרג הרגיו הרג׃
8 Olwanagana naye n’omusobola, n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi, ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
בסאסאה בשלחה תריבנה הגה ברוחו הקשה ביום קדים׃
9 Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo, era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye. Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni agayasiddwayasiddwa, tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane ebirisigala biyimiridde.
לכן בזאת יכפר עון יעקב וזה כל פרי הסר חטאתו בשומו כל אבני מזבח כאבני גר מנפצות לא יקמו אשרים וחמנים׃
10 Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo, ekirekeddwa awo ng’eddungu. Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira, n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
כי עיר בצורה בדד נוה משלח ונעזב כמדבר שם ירעה עגל ושם ירבץ וכלה סעפיה׃
11 Amatabi gaakyo bwe gakala, gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro. Bano bantu abatategeera, eyamukola tamusaasira, n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.
ביבש קצירה תשברנה נשים באות מאירות אותה כי לא עם בינות הוא על כן לא ירחמנו עשהו ויצרו לא יחננו׃
12 Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu.
והיה ביום ההוא יחבט יהוה משבלת הנהר עד נחל מצרים ואתם תלקטו לאחד אחד בני ישראל׃
13 Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.
והיה ביום ההוא יתקע בשופר גדול ובאו האבדים בארץ אשור והנדחים בארץ מצרים והשתחוו ליהוה בהר הקדש בירושלם׃

< Isaaya 27 >