< Isaaya 25 >
1 Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze ebintu eby’ettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo.
2 Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, tekirizimbibwa nate.
3 Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ng’eriyo embuyaga n’ekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gw’ab’entiisa guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 era ng’ebbugumu ery’omu ddungu. Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga, era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu, n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi, n’embaga eya wayini omuka n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 Ku lusozi luno alizikiriza ekibikka ekyetoolodde abantu bonna, n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.
9 Mu biro ebyo balyogera nti, “Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga n’atulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
10 Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno, naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we, ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 Aligolola emikono gye, ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga. Katonda alikkakkanya amalala ge newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 Alimenya bbugwe omuwanvu, n’amusuula, alimusuula ku ttaka, mu nfuufu.