< Isaaya 24 >

1 Laba Mukama alifuula ensi amatongo, agimalirewo ddala, era azikirize n’obwenyi bwayo era asaasaanye n’abagibeeramu.
הנה יהוה בוקק הארץ ובולקה ועוה פניה והפיץ ישביה׃
2 Bwe kityo bwe kiriba, ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu, ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja, ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi, ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi, ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola, ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
והיה כעם ככהן כעבד כאדניו כשפחה כגברתה כקונה כמוכר כמלוה כלוה כנשה כאשר נשא בו׃
3 Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa, n’okunyagibwa, erinyagibwa. Mukama Katonda y’akyogedde.
הבוק תבוק הארץ והבוז תבוז כי יהוה דבר את הדבר הזה׃
4 Ensi ekala n’eggwaamu obulamu, ensi ekala n’ewuubaala, abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
אבלה נבלה הארץ אמללה נבלה תבל אמללו מרום עם הארץ׃
5 Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
והארץ חנפה תחת ישביה כי עברו תורת חלפו חק הפרו ברית עולם׃
6 Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga. Abatuuze b’ensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.
על כן אלה אכלה ארץ ויאשמו ישבי בה על כן חרו ישבי ארץ ונשאר אנוש מזער׃
7 Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala, ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
אבל תירוש אמללה גפן נאנחו כל שמחי לב׃
8 Okujaguza kw’ebitaasa kusirise, n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise, entongooli esanyusa esirise.
שבת משוש תפים חדל שאון עליזים שבת משוש כנור׃
9 Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba, n’omwenge gukaayira abagunywa.
בשיר לא ישתו יין ימר שכר לשתיו׃
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo, na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
נשברה קרית תהו סגר כל בית מבוא׃
11 Bakaabira envinnyo mu nguudo, n’essanyu lyonna liweddewo, n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
צוחה על היין בחוצות ערבה כל שמחה גלה משוש הארץ׃
12 Ekibuga kizikiridde wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
נשאר בעיר שמה ושאיה יכת שער׃
13 Bwe kityo bwe kiriba ku nsi ne mu mawanga ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
כי כה יהיה בקרב הארץ בתוך העמים כנקף זית כעוללת אם כלה בציר׃
14 Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
המה ישאו קולם ירנו בגאון יהוה צהלו מים׃
15 Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama, mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, mu bizinga eby’ennyanja.
על כן בארים כבדו יהוה באיי הים שם יהוה אלהי ישראל׃
16 Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.” Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo. Zinsaze. Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe, Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
מכנף הארץ זמרת שמענו צבי לצדיק ואמר רזי לי רזי לי אוי לי בגדים בגדו ובגד בוגדים בגדו׃
17 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu b’ensi.
פחד ופחת ופח עליך יושב הארץ׃
18 Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa, aligwa mu kinnya, na buli alirinnya n’ava mu kinnya alikwatibwa mu mutego. Enzigi z’eggulu ziguddwawo, N’emisingi gy’ensi gikankana.
והיה הנס מקול הפחד יפל אל הפחת והעולה מתוך הפחת ילכד בפח כי ארבות ממרום נפתחו וירעשו מוסדי ארץ׃
19 Ensi emenyeddwamenyeddwa, ensi eyawuliddwamu, ensi ekankanira ddala.
רעה התרעעה הארץ פור התפוררה ארץ מוט התמוטטה ארץ׃
20 Ensi etagala ng’omutamiivu, eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga, omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe, era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
נוע תנוע ארץ כשכור והתנודדה כמלונה וכבד עליה פשעה ונפלה ולא תסיף קום׃
21 Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula, ne bakabaka abali wansi ku nsi.
והיה ביום ההוא יפקד יהוה על צבא המרום במרום ועל מלכי האדמה על האדמה׃
22 Balikuŋŋaanyirizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera, era baliweebwa ekibonerezo eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
ואספו אספה אסיר על בור וסגרו על מסגר ומרב ימים יפקדו׃
23 Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g’abakadde.
וחפרה הלבנה ובושה החמה כי מלך יהוה צבאות בהר ציון ובירושלם ונגד זקניו כבוד׃

< Isaaya 24 >