< Isaaya 23 >

1 Obunnabbi obukwata ku Tuulo: Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi, kubanga Tuulo kizikirizibbwa ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera. Ekigambo kyababikulirwa okuva mu nsi ya Kittimu.
משא צר הילילו אניות תרשיש כי שדד מבית מבוא מארץ כתים נגלה למו׃
2 Musirike mmwe ab’oku kizinga nammwe abasuubuzi b’e Sidoni abagaggawalidde ku nnyanja.
דמו ישבי אי סחר צידון עבר ים מלאוך׃
3 Ku nnyanja ennene kwajjirako ensigo za Sikoli, n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo, era yafuuka akatale k’amawanga.
ובמים רבים זרע שחר קציר יאור תבואתה ותהי סחר גוים׃
4 Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja, kubanga ennyanja eyogedde nti: “Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako. Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
בושי צידון כי אמר ים מעוז הים לאמר לא חלתי ולא ילדתי ולא גדלתי בחורים רוממתי בתולות׃
5 Ekigambo bwe kirijja eri Misiri, balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.
כאשר שמע למצרים יחילו כשמע צר׃
6 Muwunguke mugende e Talusiisi, mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
עברו תרשישה הילילו ישבי אי׃
7 Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu, ekibuga ekikadde, ekyagenda okusenga mu nsi eyeewala?
הזאת לכם עליזה מימי קדם קדמתה יבלוה רגליה מרחוק לגור׃
8 Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo, Tuulo ekitikkira engule, ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira, ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
מי יעץ זאת על צר המעטירה אשר סחריה שרים כנעניה נכבדי ארץ׃
9 Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka, amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna, akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.
יהוה צבאות יעצה לחלל גאון כל צבי להקל כל נכבדי ארץ׃
10 Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira, tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
עברי ארצך כיאר בת תרשיש אין מזח עוד׃
11 Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja, n’akankanya obwakabaka bwayo. Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
ידו נטה על הים הרגיז ממלכות יהוה צוה אל כנען לשמד מעזניה׃
12 Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate, ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa. Yambuka osomoke ogende e Kittimu, naye nayo tolifunirayo kuwummula.”
ויאמר לא תוסיפי עוד לעלוז המעשקה בתולת בת צידון כתיים קומי עברי גם שם לא ינוח לך׃
13 Laba ensi ey’Abakaludaaya abantu abo abatakyaliwo. Omwasuli agifudde ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu. Baayimusa eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, era n’abazikiriza.
הן ארץ כשדים זה העם לא היה אשור יסדה לציים הקימו בחיניו עררו ארמנותיה שמה למפלה׃
14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi, ekigo kyo kizikiriziddwa.
הילילו אניות תרשיש כי שדד מעזכן׃
15 Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.
והיה ביום ההוא ונשכחת צר שבעים שנה כימי מלך אחד מקץ שבעים שנה יהיה לצר כשירת הזונה׃
16 “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabiddwa. Ennanga gikube bulungi, oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”
קחי כנור סבי עיר זונה נשכחה היטיבי נגן הרבי שיר למען תזכרי׃
17 Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi.
והיה מקץ שבעים שנה יפקד יהוה את צר ושבה לאתננה וזנתה את כל ממלכות הארץ על פני האדמה׃
18 Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.
והיה סחרה ואתננה קדש ליהוה לא יאצר ולא יחסן כי לישבים לפני יהוה יהיה סחרה לאכל לשבעה ולמכסה עתיק׃

< Isaaya 23 >