< Isaaya 22 >
1 Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa: Kiki ekikutawanya kaakano, n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
2 ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano, ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu? Abantu bo abattibwa, tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
3 Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu; bawambiddwa awatali kulwana. Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, kubanga badduka.
4 Kyenava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkaabire ddala nnyo. Temugezaako kunsaasira olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”
5 Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku olw’akatabanguko, olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa; olunaku olw’okumenya bbugwe, n’okukaabirira ensozi.
6 Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale, n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi, Kiri asabuukulula engabo.
7 Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali, n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.
8 Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo. Ku lunaku olwo watunuulira ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
9 Walaba amabanga agaali mu kwerinda kw’Ekibuga kya Dawudi, wakuŋŋaanya amazzi mu Kidiba eky’Emmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri, n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde, naye tewatunuulira Oyo eyakisima, wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.
12 Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe, n’okwemwako enviiri n’okwambala ebibukutu.
13 Naye laba, ssanyu na kujaguza, okubaaga ente n’okutta endiga, okulya ennyama n’okunywa envinnyo. Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe kubanga enkya tunaafa.”
14 Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
15 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Genda eri omuwanika oyo, eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa okwetemera entaana wano, n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi, ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?
17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira, akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 Alikuzingazingako, n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa. Eyo gy’olifiira, era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala, ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 Ndikuggya ku ntebe yo, era oliggyibwa mu kifo kyo.
20 “Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya.
21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda.
22 Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo.
23 Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24 Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
25 Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.